1Omutima gwa kabaka guli ngʼamazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama, era agukyusiza gyʼayagala yonna.
2Buli kkubo lya muntu liba ngʼettuufu mu maaso ge, naye Mukama apima omutima.
2
3Okukola ebituufu nʼebyʼamazima kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.
3
4Amaaso ageegulumiza, nʼomutima ogwʼamalala, ye ttabaaza yʼababi, era ebyo kwonoona.
4
5Enteekateeka zʼomunyiikivu zivaamu magoba meereere, naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.
5
6Okufuna obugagga nʼolulimi olulimba, mpewo buwewo etwalibwa eruuyi nʼeruuyi era mutego gwa kufa.
6
7Obukambwe bwʼababi bulibamalawo, kubanga bagaana okukola ebyʼensonga.
7
8Ekkubo lyʼabazza emisango liba kyamu, naye eryʼabataliiko musango liba golokofu.
8
9Okusula ku kasolya kʼennyumba, kisinga okubeera mu nnyumba nʼomukazi omuyombi.
9
10Emmeeme yʼomubi yeegomba okukola ebibi; talaga muliraanwa we kisa nʼakatono.
10
11Omukudaazi bwʼabonerezebwa, atalina magezi agafuna; nʼowʼamagezi bwʼayigirizibwa afuna okutegeera.
11
12Katonda alaba ebifa mu nnyumba yʼomubi, era abakozi bʼebibi abazikkiririza ddala.
12
13Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kwʼomwavu, naye alikoowoola nga talina amwanukula.
13
14Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi, nʼenguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.
14
15Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu, naye kiba kyekango eri abakozi bʼebibi.
15
16Omuntu awaba okuva mu kkubo lyʼokutegeera, agukira mu bafu.
16
17Aganza ebyʼamasanyu anaabanga mwavu, nʼoyo ayagala omwenge nʼamafuta taligaggawala.
17
18Abakozi bʼebibi batuukibwako emitawaana egyandigudde ku balungi, nʼekyandituuse ku bʼamazima kituuka ku batali beesigwa.
18
19Okubeera mu ddungu, kisinga okubeera nʼomukazi omuyombi anyiiganyiiga.
19
20Mu nnyumba yʼomutuukirivu mubaamu ebyʼobugagga ebyʼomuwendo, naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.
20
21Agoberera obutuukirivu nʼekisa, alibeera nʼobulamu obukulaakulana nʼekitiibwa.
21
22Omuntu owʼamagezi alumba ekibuga ekyʼabazira nnamige, era nʼasesebbula enfo yaabwe gye beesiga.
22
23Afuga akamwa ke nʼolulimi lwe, yeewoonya emitawaana.
23
24“Mukudaazi,” lye linnya lyʼabʼamalala abeeraga, abeetwalira mu kwemanya okwʼekitalo mwe batambulira.
24
25Okwetaaga kwʼomugayaavu lwe luliba olumbe lwe, kubanga emikono gye tegyagala kukola.
26Olunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako, naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.
26
27Ssaddaaka yʼomubi ya muzizo, na ddala bwʼagireeta ngʼalina ekigendererwa ekitali kirungi.
27
28Omujulizi owʼobulimba alizikirira, naye ekigambo kyʼoyo ayogera ebyʼamazima kiribeerera emirembe gyonna.
28
29Omuntu omubi yeekazaakaza, naye omuntu owʼamazima yeegendereza amakubo ge.
29
30Tewali magezi, newaakubadde okutegeera, wadde ebiteeso ebiyinza okulemesa Mukama.
30
31Embalaasi etegekerwa olunaku olwʼolutalo, naye obuwanguzi buva eri Mukama.