1Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga ebyʼobugagga ebingi, nʼokuganja kusinga ffeeza oba zaabu.
2Abagagga nʼabaavu balina kimu ekibagatta, Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
3Omuntu omutegeevu bwʼalaba akabi yeekweka, naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.
4Obugagga nʼekitiibwa nʼobulamu yʼempeera eyʼokwetoowazanga nʼokutyanga Mukama.
5Amaggwa nʼemitego biri mu kkubo lyʼomubambaavu; naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.
6Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu, ne bwʼalikula talirivaamu.
7Omugagga afuga abaavu, naye eyeewola aba muddu wʼoyo amuwola.
8Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana, nʼoluga olwʼobusungu bwe lulizikirizibwa.
9Omuntu omugabi anaabanga nʼomukisa, kubanga emmere ye agirya nʼabaavu.
10Goba omunyoomi, entalo zinaagenda, ennyombo nʼokuvumagana binaakoma.
11Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu era ayogera nʼeggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.
12Amaaso ga Mukama galabirira amazima, era adibya entegeka zʼabatali beesigwa.
13Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,” oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”
14Malaaya mutego gwa kabi, akolimiddwa Mukama mwʼafiira.
15Obusirusiru busibiddwa ku mutima gwʼomwana omuto, naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.
16Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala, nʼoyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.
17Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo byʼomugezi, nʼomutima gwo eri ebyo bye njigiriza.
18Kibeera kya ssanyu bwʼobikwata ku mutima gwo, nʼoba mwetegefu okubiddamu byonna.
19Mbikumanyisa leero ggwe, obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.
20Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula era ebikuwa okumanya?
21Sikulaze ekirungi nʼekituufu, olyoke obe nʼekyʼokuddamu eri oyo eyakutuma?
22Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu, oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
23Kubanga Mukama alibawolereza, nʼabo ababanyaga alibanyaga.
24Tokwananga muntu wa busungu, oba okuyitanga nʼomuntu anyiiganyiiga amangu,
25oleme okuyiga amakubo ge ne weesuula mu mitawaana.
26Teweegattanga ku abo abeeyama, newaakubadde ku abo abeeyimirira abʼamabanja.
27Bwʼoliba nga tolina kya kusasula ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.
28Tojjululanga nsalo bajjajjaabo gye bassaawo edda.
29Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe? Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.