1Bwʼotuulanga okulya nʼomufuzi, weetegerezanga ebiri mu maaso go;
2era weegendereze bwʼobanga omanyi ngʼolulunkanira ebyokulya.
3Tolulunkanira mmere ye ennungi, kubanga erimbalimba.
4Teweemalangako mirembe ngʼoyaayaanira obugagga; weefuge obeere mukkakkamu.
5Ebyʼobugagga obikubako eriiso limu nga byʼagenze dda, kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro ne bibuuka mu bbanga ngʼempungu.
6Tolyanga mmere ya muntu mukodo, wadde okwegomba ebirungi byʼalya.
7Kubanga ye muntu abalirira ensimbi zʼasaasaanyizza, nʼakugamba nti, “Weeriire, weenywere,” naye ngʼomutima gwe tegukusanyukira.
8Akatono kʼonooba olidde onookasesema, ebigambo byo ebirungi ebyʼokwebaza bibe bya bwereere.
9Totegana kubuulirira musirusiru, kubanga ajja kunyooma ebigambo byo ebyʼamagezi.
10Tojjululanga nsalo eyʼedda, so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa,
11kubanga abalwanirira wʼamaanyi, alikuggulako omusango.
12Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa, nʼamatu go eri ebigambo byʼokutegeera.
13Tolekangayo kukangavvula mwana, bwʼomubonereza nʼakaggo tekimutta.
14Mubonerezenga nʼakaggo, kiwonye emmeeme ye okufa.
15Mwana wange, bwʼoba nʼomutima ogwʼamagezi, kinsanyusa.
16Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo yʼomutima gwange, bwʼonooyogeranga ebituufu.
17Omutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya, kyokka nyiikira okutya Mukama ebbanga lyonna.
18Mazima ddala onoobanga nʼessuubi mu biseera ebyʼomu maaso, nʼessuubi lyo eryo teririggwaawo.
19Mwana wange wulirizanga, obeerenga nʼamagezi, okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.
20Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge, nʼabalulunkanira ennyama:
21Kubanga omutamiivu nʼomuluvu baavuwala, nʼokubongoota olutata kubambaza enziina.
22Wulirizanga kitaawo eyakuzaala, so togayanga nnyoko ngʼakaddiye.
23Gula amazima so togatunda, ffuna amagezi, nʼokuyigirizibwa nʼokutegeera.
24Kitaawe wʼomutuukirivu alina essanyu lingi, nʼoyo azaala omwana owʼamagezi amwenyumiririzaamu.
25Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke, omukazi eyakuzaala ajaguzenga.
26Mwana wange mpa omutima gwo, nʼamaaso go geekalirize amakubo gange,
27kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu, nʼomukazi omubambaavu luzzi lufunda.
28Ateega ngʼomutemu, nʼayongera ku muwendo gwʼabasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe.
29Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku? Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? Ani alina ebiwundu ebyʼobwereere? Ani amyuse amaaso?
30Abo abatava ku mwenge, nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.
31Totunuulira wayini ngʼamyuse, bwʼatemaganira mu ggiraasi ngʼakka empolampola;
32ku nkomerero aluma ngʼomusota, wa busagwa ngʼessalambwa.
33Amaaso go galiraba ebyewuunyo, nʼomutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.
34Oliba ngʼomuntu eyeebase wakati mu nnyanja, obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.
35Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa. Bankubye naye sirina kye mpuliddemu. Nnaazuukuka ddi, neeyongere okunywa?”