1Teweegombanga bakozi ba bibi era tobeesemberezanga.
2Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu, era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.
3Amagezi ge gazimba ennyumba, nʼokutegeera kwe kugiggumiza.
4Olwʼamagezi ebisenge byʼayo bijjula ebintu ebirungi, ebyʼobugagga ebitalabikalabika ebyʼomuwendo omungi.
5Omuntu owʼamagezi aba nʼobuyinza, nʼomuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.
6Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa, nʼokuluwangula, weetaaga abawi bʼamagezi bangi.
7Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru, talina kyʼasobola kwogera mu lukuŋŋaana olwʼoku wankaaki.
8Oyo asala enkwe ezʼokukola ebibi, aliyitibwa mukujjukujju.
9Entegeka ezʼobusirusiru muvaamu kwonoona, abantu beetamwa omukudaazi.
10Bwʼoyongobera mu kiseera ekyʼebizibu, olwo ngʼolina amaanyi matono!
11Odduukiriranga nʼowonya abo abatwalibwa okuttibwa, nʼabo abali ku njegoyego zʼokuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
12Bwʼogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,” oyo akebera emitima aba talaba? Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi? Talisasula buli muntu ngʼomulimu gwe bwe guli?
13Mwana wange olyanga omubisi gwʼenjuki kubanga mulungi, omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
14Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo, bwʼonoogafuna onoobeera nʼessuubi mu bulamu obwʼomu maaso, nʼessuubi lyo teririkoma.
15Toteeganga, ngʼomunyazi bwʼakola ku nnyumba yʼomutuukirivu, tonyaganga maka ge.
16Omuntu omutuukirivu ne bwʼagwa emirundi omusanvu, addamu nʼayimuka, naye abakozi bʼebibi basuulibwa mu mitawaana.
17Tosanyukanga ngʼomulabe wo agudde, bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
18Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa, nʼamusunguwalira.
19Teweeraliikiriranga olwʼabo abakola ebibi, so abakozi bʼebibi tobakwatirwanga buggya.
20Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso, ettabaaza yʼabakozi bʼebibi erizikizibwa.
21Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka, era teweetabanga na bajeemu.
22Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu era ani amaanyi akabi akalibatuukako?
23Bino nabyo era bigambo byʼabalina amagezi. Okwekubiira ngʼosala emisango si kirungi.
24Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko kyʼovunaanibwa,” abantu banaamukolimiranga, nʼamawanga ganaamwetamwanga.
25Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga nʼessanyu, nʼomukisa omulungi gulibatuukako.
26Ekyʼokuddamu ekyʼamazima, kiri ngʼokunywegerwa.
27Malirizanga omulimu gwo ogwʼebweru, oteeketeeke ennimiro zo, nʼoluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.
28Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo, so akamwa ko tekalimbanga.
29Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bwʼankoze, era ndimusasuza nga bwʼampisizza.”
30Nayita ku nnimiro eyʼomugayaavu, ne mpita ne ku nnimiro yʼemizabbibu eyʼoyo atalina kutegeera.
31Kale laba, ngʼennimiro eyo ebunye amaggwa, wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo, nʼolukomera lwayo olwʼamayinja nga lugudde.
32Ne neekaliriza ne ntegeera ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
33Otulo otutonotono, nʼokusumagira akatono, nʼokufunya emikono okuwummulako,
34obwavu bulikutuukako ngʼomutemu, era nʼobwetaavu ngʼomubbi.