Engero 25:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.

2Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda, naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.

3Ngʼeggulu bwe lyewanise waggulu ennyo nʼensi bwʼekka ennyo wansi, bwe gityo nʼemitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.

4Effeeza giggyeemu ebisejja, olyoke ofune omuweesi kyʼanaakozesa.

5Ggyawo abakozi bʼebibi mu maaso ga kabaka, entebe ye eyʼobwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.

6Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, wadde okwewa ekifo mu bantu abʼekitiibwa.

7Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,” kisingako okukuswaza mu maaso gʼowʼekitiibwa.

8Amaaso go bye galabye tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga, kubanga oluvannyuma onookola otya munno bwʼanaakuswaza?

9Bwʼowozanga ne muliraanwa wo, tobikkulanga kyama kya muntu mulala,

10akiwulira aleme okukuswaza; nʼonyoomebwa ebbanga lyonna.

11Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde, kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.

12Ngʼempeta eyʼomu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi, bwʼatyo omuntu owʼamagezi anenya, bwʼabeera eri okutu okuwuliriza.

13Ngʼobunnyogovu bwʼomuzira bwe bubeera mu biseera ebyʼokukunguliramu, bwʼatyo bwʼabeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma, aweweeza emmeeme ya bakama be.

14Ngʼebire nʼempewo omutali nkuba, omuntu asuubiza ebirabo byʼatagaba bwʼabeera.

15Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi, nʼolulimi olwʼeggonjebwa lumenya eggumba.

16Bwʼozuula omubisi gwʼenjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala, si kulwa ngʼogukkuta nnyo nʼogusesema.

17Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo, si kulwa ngʼakwetamwa nʼakukyawa.

18Omuntu awa obujulizi obwʼobulimba ku muliraanwa we, ali ngʼembuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.

19Okwesiga omuntu ateesigika, kiri ngʼoli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.

20Ngʼomuntu eyeeyambula engoye mu kiseera ekyʼobutiti, era ngʼomwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu, bwʼatyo bwʼabeera ayimbira oyo ali mu buyinike.

21Omulabe wo bwʼaba alumwa enjala, muwe emmere alye, bwʼaba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.

22Kubanga oliba otuuma amanda gʼomuliro ku mutwe gwe, era Mukama alikuwa empeera.

23Ngʼempewo eyʼobukiikakkono bwereeta enkuba, nʼolulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.

24Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba, kisinga okubeera nʼomukazi omuyombi mu nnyumba.

25Ngʼamazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta, bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi eyʼewala.

26Ngʼoluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese, bwʼatyo bwʼabeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi wʼebibi.

27Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi, bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.

28Omuntu ateefuga ali ngʼekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>