1Ngʼomuzira bwe gutasaana mu biseera bya kusiga oba enkuba mu makungula, nʼekitiibwa bwe kitasaanira musirusiru.
2Ngʼenkazaluggya ewabye, ngʼakataayi akabuukabuuka, ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.
3Embooko ya mbalaasi, nʼolukoba lwa ndogoyi, nʼomuggo gusaanira migongo gya basirusirusiru.
4Toyanukulanga musirusiru ngʼobusirusiru bwe, bwe buli, oleme kubeera nga ye.
5Omusirusiru omuddangamu ngʼobusirusiru bwe, bwe buli, si kulwa nga yeerowooza nti mugezi.
6Omuntu atuma omusirusiru, aba ngʼeyeetemyeko ebigere nʼanywa obusungu.
7Ngʼamagulu gʼomulema bwe galengejja obulengezzi, bwe lutyo nʼolugero bwe lubeera mu kamwa kʼomusirusiru.
8Ngʼatadde ejjinja mu nvuumuulo bwʼaba, nʼoyo awa omusirusiru ekitiibwa bwʼatyo bwʼabeera.
9Ngʼeriggwa bwe lifumita mu mukono gwʼomutamiivu, bwe lutyo nʼolugero bwe lubeera mu kamwa kʼabasirusiru.
10Ngʼomulasi wʼakasaale, amala galasa buli gwʼasanze, bwʼabeera bwʼatyo apangisa omusirusiru oba omuyise yenna gwʼasanze.
11Ngʼembwa bwʼeddira ebisesemye byʼayo, bwʼatyo bwʼabeera omusirusiru adda mu nsobi ze.
12Olaba omuntu omugezi mu maaso ge ye? Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
13Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma, empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”
14Ngʼoluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo, bwʼatyo omugayaavu bwʼakyukira ku kitanda kye.
15Omugayaavu akoza nʼengalo ze mu kibya, naye olwʼobunafu bwe nʼatasobola kuzizza mu kamwa.
16Omugayaavu alowooza nti mugezi, okusinga abantu omusanvu abaddamu ebibuuzo mu butuufu.
17Ngʼasika embwa amatu, omuyise bwʼabeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.
18Ngʼomulalu akasuka emmuli ezʼomuliro oba obusaale obutta,
19bwʼabeera omuntu alimba munne, nʼagamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi.”
20Enku bwe zibula omuliro guzikira, awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.
21Ngʼamanda ku gannaago agaliko omuliro, oba enku ku muliro, bwʼabeera omusajja omuyombi mu kuwakula entalo.
22Ebigambo byʼowʼolugambo biwoomerera ngʼakookulya akalungi, bigendera ddala mu bifo ebyʼomunda ebyʼomuntu.
23Ngʼekintu ekyʼebbumba ekibikkiddwako amasengere, bwe gibeera emimwa eminyiikivu egisibuka ku mutima omubi.
24Omuntu owʼenkwe alimbalimba nʼemimwa gye naye ngʼaterese obulimba mu mutima gwe.
25Wadde nga byʼayogera bisanyusa, tomukkiririzaamu kubanga ebyʼemizizo musanvu bijjuza mu mutima gwe.
26Enkwe ze ziyinza okubikkibwa mu kubuzaabuuza, naye obutali butuukirivu bwe buliggyibwayo mu lukuŋŋaana.
27Buli asima ekinnya yʼalikigwamu, nʼoyo aliyiringisa ejjinja gwe liriddira.
28Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita, nʼakamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.