Engero 27:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Teweenyumirizanga mu bya nkya, kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.

2Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe, omuntu omulala so si mimwa gyo.

3Ejjinja lizitowa, nʼomusenyu muzito, naye obulumbaganyi bwʼomusirusiru businga byonna okuzitowa.

4Obusungu bwa ttima, nʼekiruyi kifugira ddala nnyo, naye ani ayinza okwolekera amaaso gʼobuggya?

5Okunenya mu lwatu, kisinga okwagala okukisibbwa.

6Okunywegera kwʼomulabe kwandiba okungi, naye ebiwundu byʼokunenya kwʼowoomukwano tebitiisa.

7Oyo akkuse akyawa omubisi gwʼenjuki, naye eri omuyala nʼekikaawa kiba kiwoomerera.

8Ngʼakanyonyi akadduka mu kisu kyako, bwʼatyo bwʼabeera omuntu abula mu maka ge.

9Ebyakaloosa bisanyusa omutima, nʼobuwoomerevu bwʼomukwano gwʼomuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okwʼamazima.

10Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga, olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ngʼogudde mu mitawaana. Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.

11Beeranga nʼamagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange, ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.

12Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka, naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.

13Twalanga ekyambalo kyʼoyo eyeeyimirira gwʼatamanyi, era kwatanga ekyʼoyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye.

14Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ngʼoleekaana, obanga amukolimidde.

15Omukazi omuyombi ali ngʼenkuba etonnya olutata, ku lunaku olwʼenkuba ennyingi.

16Okumuziyiza obanga aziyiza empewo oba ngʼanyweza omuzigo mu ngalo.

17Ngʼekyuma bwe kiwagala ekyuma, nʼomuntu bwʼabangula muntu munne.

18Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo, nʼoyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.

19Ngʼamazzi bwe galaga omuntu bwʼafaanana mu maaso, bwe gutyo omutima gwʼomuntu bwe gulaga omuntu bwʼafaanana.

20Amagombe ne ggeyeena tebikkuta, nʼamaaso gʼabantu nago bwe gatyo tegakkuta.

21Entamu erongoosa ya ffeeza nʼekikoomi kikola ku zaabu, naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.

22Ne bwʼosekula omusirusiru mu kinu, nga bwʼosekula emmere yʼempeke mu kinu, obusirusiru bwe tobumuggyaamu.

23Okakasanga nti omanyi bulungi embeera zʼekisibo kyo, ossangayo omwoyo ku ggana lyo.

24Kubanga ebyʼobugagga tebibeerera mirembe gyonna, nʼengule tebeerera mirembe gyonna.

25Ngʼomuddo gwʼensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ngʼomutoototo gutandise okusibukawo, nga nʼomuddo ogwʼomu busozi guleeteddwa,

26abaana bʼendiga balikuwa engoye ezʼokwambala, nʼembuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.

27Olibeera nʼamata mangi gʼonoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe nʼabʼomu nnyumba yo, nʼokuliisa abaweereza bo abawala.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>