Engero 28:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Abakozi bʼebibi badduka nga tewali abagoba, naye abatuukirivu babeera nʼobuvumu ngʼempologoma.

2Eggwanga bwe lijeema, liba nʼabafuzi bangi, naye olwʼomuntu alina okutegeera nʼokumanya obutebenkevu budda nate mu nsi.

3Omufuzi anyigiriza abaavu, afaanana nga enkuba etonnya ezikiriza nʼeterekaawo birime.

4Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi, naye abo abagakuuma babawakanya.

5Abantu abakozi bʼebibi tebategeera bwenkanya, naye abo abanoonya Mukama babutegeerera ddala bulungi.

6Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga omugagga owʼamakubo amakyamu.

7Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza, naye mukwano gwʼabʼomululu akwasa kitaawe ensonyi.

8Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya, abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba owʼekisa eri abaavu.

9Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama, nʼokusaba kwe tekukkirizibwa.

10Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi, aligwa mu katego ke ye, naye abatuukirivu balisikira ebirungi.

11Omugagga alowooza nti mugezi, naye omwavu alina okutegeera, amunyooma.

12Abatuukirivu bwe bawangula wabaawo okujaguza okwʼamaanyi, naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuna obuyinza abantu beekweka.

13Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana, naye buli abyatula nʼabireka, alisaasirwa.

14Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna, naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.

15Ngʼempologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa, bwʼabeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola.

16Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya, naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera nʼessanyu eryʼobulamu obuwangaazi.

17Omuntu alumirizibwa olwʼokutta munne, alibeera mu kutegana okutuusa okufa, tewabanga nʼomu amuyamba.

18Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi, naye oyo owʼamakubo amabi aligwa mbagirawo.

19Omuntu alima ennimiro ye aliba nʼemmere nnyingi, naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu.

20Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi, naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.

21Okuttira abantu ku liiso ngʼosala emisango si kirungi, naye ate olwʼokunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango.

22Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala, naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.

23Oyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja, okusinga oyo awaaniriza nʼolulimi.

24Buli anyaga kitaawe, oba nnyina, nʼagamba nti, “Si nsonga,” afaanana nʼoyo azikiriza.

25Omuntu owʼomululu aleeta oluyombo, naye oyo eyeesiga Mukama aligaggawazibwa.

26Eyeesiga omutima gwe, musirusiru, naye oyo atambulira mu magezi alifuna emirembe.

27Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga, naye abakodowalira anaabanga nʼebikolimo bingi.

28Abakozi bʼebibi bwe babeera mu buyinza, abantu beekweka, naye abakozi bʼebibi bwe bazikirira, abatuukirivu bakulaakulana.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>