Engero 29:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Omuntu akakanyaza omutima gwe oluvannyuma lwʼokunenyezebwa emirundi emingi, alizikirira ngʼatamanyiridde awatali kuwona.

2Abatuukirivu bwe bakulaakulana, abantu basanyuka, naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuga abantu babeera mu kusinda.

3Ayagala amagezi asanyusa kitaawe, naye munne wʼabamalaaya ayiwaayiwa obugagga bwe.

4Kabaka afuga nʼobwenkanya, abantu be baba mu butebenkevu, naye oyo alulunkanira enguzi, ensi agyonoona.

5Omuntu awaanawaana munne, aba yeetega yekka ekitimba.

6Ebibi byʼomwonoonyi bye bimutega, naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.

7Omutuukirivu afaayo ku nsonga zʼabaavu, naye abakozi bʼebibi tebakola bwe batyo.

8Abakudaazi basasamaza ekibuga, naye abantu abalina amagezi baziyiza entalo.

9Omuntu owʼamagezi bwʼawoza nʼomusirusiru, omusirusiru ayongera kusunguwala, nʼokujerega ne wataba mirembe.

10Abeegomba okuyiwa omusaayi bakyawa omuntu owʼamazima, era banoonya okusaanyaawo obulamu bwe.

11Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna, naye omuntu owʼamagezi abuziyiza nʼabukkakkanya.

12Omufuzi bwʼawuliriza ebyʼobulimba, abakungu be bonna bafuuka babi.

13Omwavu nʼoyo amubonyaabonya balina ekibagatta: Mukama bombi ye yabawa amaaso.

14Kabaka bwʼasalira abaavu emisango nʼobwesigwa, obufuzi bwe bubeerera emirembe gyonna.

15Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi, naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.

16Abakozi bʼebibi bwe beeyongera obungi, okumenya amateeka kweyongera, naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe.

17Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe, alireetera emmeeme yo essanyu.

18Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza, naye wa mukisa oyo akuuma amateeka ga Mukama.

19Omuweereza tayinza kubuulirirwa na bigambo byokka; ne bwʼaba ategedde tafaayo.

20Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru alina essuubi okumusinga.

21Atiitiibya omuweereza we ekiyitiridde ngʼakyali mwana muto, oluvannyuma omuweereza aleetera mukama we obuyinike.

22Omuntu owʼobusungu aleeta ennyombo, nʼomuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.

23Amalala gʼomuntu galimuleetera okugwa, naye omuntu owʼomwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.

24Buli assa ekimu nʼomubbi akyawa obulamu bwe ye, era ne bwʼalayizibwa tasaanira kubaako kyʼayogera.

25Okutya omuntu kuleeta ekyambika, naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.

26Bangi abanoonya okuganja mu maaso gʼomufuzi, naye obwenkanya obwa nnama ddala buva eri Mukama.

27Atali mutuukirivu wa muzizo eri abatuukirivu; era omwesimbu wa muzizo eri abakozi bʼebibi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>