Engero 3:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza, era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,

2kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi, era bikukulaakulanye.

3Amazima nʼekisa tobyerabiranga; byesibe mu bulago bwo, obiwandiike ku mutima gwo.

4Bwʼotyo bwʼonoofuna okuganja nʼokusiimibwa eri Katonda nʼeri abantu.

5Weesige Mukama nʼomutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka.

6Mukama mukulembezenga mu byʼokola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga nʼowangula.

7Amagezi go tegakusigulanga, naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.

8Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo nʼamagumba go ne gadda buggya.

9Mukama mugulumizenga nʼebyʼobugagga byo; nʼebibala ebisooka ebyʼebintu byo byonna ebyʼomu nnimiro yo,

10olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu, era nʼamasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.

11Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, nʼokunenya kwe kulemenga okukukooya,

12kubanga Mukama anenya oyo gwʼayagala, nga kitaawe wʼomwana bwʼanenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.

13Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi, omuntu oyo afuna okutegeera,

14kubanga amagezi gasinga ffeeza era galimu amagoba okusinga zaabu.

15Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja agʼomuwendo omungi: era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.

16Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi; ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga nʼekitiibwa.

17Mu magezi mulimu essanyu, era nʼamakubo gaago ga mirembe.

18Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza; abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.

19Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gyʼensi; nʼokutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;

20nʼokumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bwʼennyanja, era nʼebire ne bivaamu omusulo.

21Mwana wange, beeranga nʼokuteesa okulungi nʼokusalawo ebisaana, ebyo biremenga okukuvaako,

22binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo, era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.

23Bwʼotyo bwʼonootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo, era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.

24Bwʼonoogalamiranga toobenga na kutya, weewaawo bwʼoneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.

25Totyanga kabenje kootomanyiridde, wadde okuzikirira okujjira abakozi bʼebibi,

26Kubanga Mukama yʼanaabeeranga obwesigwa bwo, era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.

27Tommanga birungi abo be bisaanira bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.

28Togambanga muliraanwa wo nti, “Genda, onodda enkya ne nkuwa,” ate nga kye yeetaaga okirina.

29Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo, atudde emirembe ngʼakwesiga.

30Tovunaananga muntu nʼomu awatali nsonga nga talina kabi kʼakukoze.

31Tokwatirwanga obuggya omuntu ayigganya abalala, era tokolanga nga ye bwʼakola,

32kubanga omuntu omugwagwa wa muzizo eri Mukama, naye abo abagolokofu abalinamu obwesige.

33Ekikolimo kya Mukama kiri ku nnyumba yʼababi, naye awa omukisa ennyumba yʼabatuukirivu.

34Ddala ddala, Mukama anyooma abanyoomi, naye abeetoowaza abawa ekisa.

35Abʼamagezi balisikira ekitiibwa, naye abasirusiru baliswazibwa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.