1Bino byʼebigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno: Bwʼati omusajja ono bwe yagamba Isyeri, Isyeri ono ne Ukali.
2Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera, sirina kutegeera kwa bantu.
3Siyize magezi, so nʼoyo Omutukuvu simumanyi.
4Ani eyali alinnye mu ggulu nʼakka? Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu kyʼengalo ze? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyatonda enkomerero zonna ezʼensi? Erinnya lye yʼani, ne mutabani we yʼani? Mbulira obanga obimanyi.
5Buli kigambo kya Katonda kya mazima, era aba ngabo eri abo abamwesiga.
6Toyongeranga ku bigambo bye, alemenga okukunenya naawe olabike ngʼomulimba.
7Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi Mukama, tobinnyimanga nga sinnafa:
8Ebigambo ebyʼobutaliimu nʼebyʼobulimba binteeke wala, ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza, naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.
9Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti, “Mukama ye yʼani?” Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.
10Tosekeetereranga muweereza eri mukama we, alemenga okukukolimira, naawe omusango ne gukusinga.
11Waliwo abo abakolimira bakitaabwe ne batasabira na bannyaabwe mukisa;
12abo abeeraba ngʼabatuukirivu bo mu maaso gaabwe, ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe.
13Waliwo abo abʼamalala amayitirivu, abatunuza okwemanya okwʼekitalo,
14nʼebeerayo abo abalina amannyo agali ngʼebitala, nʼemba zaabwe nga zirimu ebiso, okusaanyaawo abaavu mu nsi, nʼabo abali mu kwetaaga.
15Ekinoso kirina bawala baakyo babiri abaleekaana nti, “Mpa! mpa!”
15Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta, weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”
16Amagombe, olubuto olugumba, ettaka eritakutta mazzi, nʼomuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!”
17Eriiso lyʼoyo anyooma kitaawe, era nʼatagondera nnyina, liriggibwamu bannamuŋŋoona abʼomu kiwonvu, ne liriibwa ensega.
17
18Waliwo ebigambo bisatu ebyʼekitalo ennyo gye ndi, weewaawo bina bye sitegeera:
19Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga, nʼomusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja, nʼekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja, nʼengeri omusajja gye yeeyisaamu ngʼali nʼembeerera.
20Bwʼati bwe yeeyisa omukazi omwenzi: alya nʼasiimuula emimwa gye nʼagamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
21Ensi ekankanira wansi wʼebintu bisatu weewaawo bina:
22omuweereza bwʼafuuka kabaka, nʼomusirusiru bwʼakutta emmere;
23nʼomukazi eyadibira mu ddya; nʼomuweereza omuwala bwʼafumbirwa bba wa mugole we.
24Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi, ebirina amagezi amangi ennyo.
25Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi, naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;
26obumyu busolo bunafu naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
27enzige tezirina kabaka, kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;
28omunya oyinza okugukwasa engalo, naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.
29Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula, weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:
30empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gyʼesegulira yonna;
31sseggwanga, nʼembuzi ennume, ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.
32Bwʼoba ngʼobadde okoze ebyʼobusirusiru ne weegulumiza, obanga obadde oteekateeka okukola ebibi, weekomeko weekwate ku mumwa.
33Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo, nʼokunyiga ennyindo kuleeta omusaayi, okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.