3
4Ggwe Lemweri, si kya bakabaka, si kya bakabaka okunywanga omwenge, so si kya balangira okwegombanga omwenge,
5si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka, ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.
6Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa, nʼomwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.
7Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe, alemenga kujjukira nate buyinike bwe.
7
8Yogereranga abo abatasobola kweyogerera, otunulenga mu nsonga zʼabo bonna abaasigala ettayo.
9Yogera olamulenga nʼobwenkanya, olwanirirenga abaavu nʼabali mu bwetaavu.
10Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Wa muwendo nnyo okusinga amayinja agʼomuwendo ennyo.
11Bba amwesiga nʼomutima gwe gwonna, era bba talina kyonna kya muwendo kyʼabulwa.
12Aleetera bba essanyu so tamukola kabi, obulamu bwe bwonna.
13Anoonya ebyoya byʼendiga nʼanoonya ne ppamba, nʼakola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.
14Ali ngʼebyombo byʼabasuubuzi, aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.
15Agolokoka tebunnakya, nʼawa abʼomu nnyumba ye ebyokulya, nʼagabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egyʼokukola.
16Alowooza ku nnimiro nʼagigula; asimba ennimiro eyʼemizabbibu nʼebibala byʼemikono gye.
17Omukazi oyo akola nʼamaanyi omulimu gwe, emikono gye gikwata nʼamaanyi emirimu gye.
18Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba nʼabisuubula, era nʼettabaaza ye ekiro tezikira.
19Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe, engalo ze ne zikwata akati akalanga.
20Ayanjululiza abaavu omukono gwe, nʼagololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.
21Mu biseera byʼobutiti taba na kutya, kubanga abʼomu nnyumba ye bonna baba nʼengoye ezʼokwambala.
22Yeekolera ebibikka obuliri bwe, era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu.[4]
23Bba amanyibbwa, yʼomu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu.
24Omukazi atunga ebyambalo ebya linena nʼabitunda, nʼaguza abasuubuzi enkoba.
25Amaanyi nʼekitiibwa bye byambalo bye, era tatya ebiro ebigenda okujja.
26Ayogera nʼamagezi, era ayigiriza ebyekisa.
27Alabirira nnyo empisa zʼabʼomu nnyumba ye, era talya mmere ya bugayaavu.
28Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa, ne bba nʼamutendereza ngʼayogera nti,
29“Abakazi bangi abakola ebyʼekitiibwa naye bonna ggwe obasinga.”
30Obubalagavu bulimba nʼendabika ennungi teriiko kyegasa, naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
31Mumusasule empeera gyʼakoleredde, nʼemirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gyʼekibuga.