1Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ngʼokwa kitammwe, era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
2Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi; temulekanga biragiro byange.
3Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange, omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
4Yanjigiriza nʼaŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo, kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
5Funa amagezi; funa okutegeera, teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange,
6Togalekanga, nago ganaakukuumanga, gaagale nago ganaakulabiriranga.
7Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu; noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
8Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa, gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
9Amagezi gajja kukutikkira engule eyʼekisa, era gakuwe nʼengule eyʼekitiibwa.”
10Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange olyoke owangaalire ku nsi nʼessanyu eringi.
11Nkuluŋŋamya mu kkubo eryʼamagezi, ne nkukulembera mu makubo agʼobutuukirivu.
12Bwʼonootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa; era bwʼonoddukanga, tojjanga kwesittala.
13Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga: kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
14Toyingiranga mu kkubo lyʼabakozi bʼebibi, wadde okutambulira mu kkubo lyʼabantu aboonoonyi.
15Lyewalenga, tolitambulirangamu, liveeko okwate ekkubo lyo.
16Kubanga abakozi bʼebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi, era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
17Okukola ebibi yʼemmere yaabwe, nʼokukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.
18Ekkubo lyʼabatuukirivu liri ngʼenjuba eyakavaayo, eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19Naye ekkubo lyʼababi liri ngʼekizikiza ekikutte, tebamanyi kibaleetera kwesittala.
19
20Mutabani wange wuliriza nʼobwegendereza ebigambo byange; osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21Ebigambo bino tebikuvangako, bikuumire ddala mu mutima gwo,
22kubanga bya bulamu eri abo ababifuna, era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23Ekisinga byonna kuuma omutima gwo, kubanga yʼensulo yʼobulamu bwo.
24Weewalire ddala ebyʼobubambavu era nʼokwogera ebyaswakaba.
25Amaaso go gatunulenga butereevu, era otunulenga nʼobumalirivu eyo gyʼolaga.
26Ttereeza bulungi amakubo go; okwate amakubo ageesigika gokka.
27Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono; ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.