Engero 5:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange, era owulirizanga bulungi ebigambo byange ebyʼamagezi,

2olyoke oyige okusalawo okwʼamagezi, era akamwa ko kavengamu ebyʼobutegevu.

3Kubanga emimwa gyʼomukazi omwenzi gitonnya omubisi gwʼenjuki, nʼebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;

4naye enkomerero ya byonna, akaawa ngʼomususa era asala ngʼekitala ekyʼobwogi obubiri.

5Ebigere bye bituuka mu kufa, ebisinde bye biraga emagombe.

6Tafaayo ku kkubo lya bulamu, amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

7Kaakano, batabani bange mumpulirize, temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.

8Mwewalenga omukazi oyo era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;

9si ku lwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe, nʼokumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,

10ate si ku lwa nga bʼotolina kyʼobamanyiiko bakwavuwaza, nʼamaanyi go nʼogamalira ku maka gʼomulala.

11Ku nkomerero yʼobulamu bwo olisinda, ennyama yo nʼomubiri gwo nga biweddewo.

12Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa, nʼomutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,

13era ne sigondera ddoboozi lyʼabasomesa bange, wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.

14Ntuuse ku njegoyego zʼokuzikirira nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro lyʼekibiina.”

15Onoonywanga amazzi agʼomu kidiba kyo, nʼamazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.

16Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo, nʼenzizi zo mu bifo ebigazi ebyʼomu kibuga?

17Leka bibeere bibyo wekka, bireme kugabanibwako bʼotomanyiiko nʼakamu.

18Kale leka ensulo yo ebeere nʼomukisa, era osanyuke ne mukazi wo owʼomu buvubuka bwo.

19Ngʼennangaazi eyeeyagaza nʼempeewo esanyusa, leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.

20Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi, nʼogwa mu kifuba kyʼomukazi wʼomusajja omulala?

21Kubanga Mukama alaba amakubo gʼomuntu gonna, era nʼakebera nʼamakubo ge gonna.

22Ebikolwa byʼomukozi wʼebibi bimufuukira omutego, era emiguwa gyʼebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.

23Alifa, kubanga yagaana okwekuuma, era alizikirira olwʼobusirusiru bwe obungi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.