1Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo, ne weeyama okuyamba omuntu gwʼotomanyi, oli mu katyabaga.
2Obanga weesibye nʼebigambo ggwe kennyini bye wayogera, ngʼebigambo byʼomu kamwa ko bikusibye,
3kino mwana wange kyʼoba okola okusobola okwewonya, kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo: Yanguwa, ogende weetoowaze, weegayirire muliraanwa wo.
4Amaaso go togaganya kwebaka, wadde ebikowe byo okubongoota.
5Onunule obulamu bwo ngʼempeewo bwʼedduka okuva mu ngalo zʼomuyizzi, era ngʼekinyonyi, bwe kiva mu mutego gwʼomutezi.
6Yigira ku nkuyege, mugayaavu ggwe; fumiitiriza engeri gye zikolamu oziyigireko.
7Tezirina mukulembeze, mukungu oba mufuzi yenna azikulembera,
8kyokka zeekuŋŋaanyiza emmere mu biseera ebyʼamakungula, ne zitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.
9Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe? Oligolokoka ddi nʼova mu tulo two?
10Leka neebakeko katono, kale ka neebakeko katono nnyo, nzingeko katono emikono mpumuleko.
11Naye obwavu bulikujjira ngʼomunyazi bwʼajja, nʼobwetaavu ngʼomutemu.
12Omuntu ataliiko kyʼagasa, omusajja omubi agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
13agenda atemyatemya ku liiso, nga bwʼakuba ebigere ate nga bwʼasongasonga olunwe,
14olwʼomutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi, bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!
15Noolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo, mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.
16Waliwo ebintu mukaaga Mukama byʼakyawa, weewaawo musanvu ebyʼomuzizo gyʼali.
17Amaaso agʼamalala, emimwa egirimba, okuttira abantu obwereere;
18Omutima ogutegeka okukola ebibi, ebigere ebyanguwa okukola ebibi,
19obujulizi obwʼobulimba, nʼomuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.
20Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo, era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22Bijja kukuluŋŋamyanga buli gyʼonoolaganga, ne bwʼonoobanga weebase binaakukuumanga, ate ngʼozuukuse binaabanga naawe.
23Kubanga amateeka ttabaaza, era nʼokuyigiriza kitangaala, okukulabula olwʼokukuluŋŋamya, lyʼekkubo eryʼobulamu,
24okukuwonya omukazi owʼebibi, okukuggya mu kunyumiikiriza kwʼomukazi omwenzi.
25Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo, wadde okumukkiriza okukuwamba nʼamaaso ge,
26kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati, era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, ebyambalo bye ne bitaggya?
28Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya, ebigere bye ne bitasiriira?
29Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we, buli akwata ku mukazi ngʼoyo talirema kubonerezebwa olwʼekibi kye.
30Abantu tebasekerera muntu bwʼabba, olwʼokwewonya enjala.
31Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu; ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna ebyʼomu nju ye.
32Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi; kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.
33Alifuna ebiwundu nʼokunyoomebwa; nʼobuswavu tebulimusangulibwako.
34Kubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira, era taliba na kisa nʼakatono nga yeesasuza.
35Talikkiriza mutango gwonna, wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.