1Mutabani nyweeza ebigambo byange, era okuumenga ebiragiro byange.
2Kwata ebiragiro byange obeere mulamu, nʼamateeka gange ogakuume ngʼemmunye yʼeriiso lyo;
3Togalekanga kuva mu ngalo zo, gawandiike ku mutima gwo.
4Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko, nʼokutegeera, ngʼowooluganda owʼomu kika kyo.
5Binaakuwonyanga omukazi omwenzi, omukazi omutambuze awaanawaana nʼebigambo ebisendasenda.
6Lumu nnali nnyimiridde ku ddirisa lyʼennyumba yange,
7Ne ndaba mu bavubuka abatoototo, omulenzi atalina magezi,
8ngʼayita mu luguudo okumpi nʼakafo kʼomukazi omwenzi, nʼakwata ekkubo eridda ku nnyumba yʼomukazi oyo,
9olwʼeggulo ngʼobudde buzibye, ekizikiza nga kikutte.
10Awo omukazi nʼajja okumusisinkana ngʼayambadde nga malaaya, ngʼajjudde ebirowoozo ebyʼobukaba mu mutima gwe.
11Omukazi omukalukalu, atambulatambula ennyo atabeerako waka,
12wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu, mu buli kafo konna ngʼateega!
13Nʼamuvumbagira, nʼamunywegera era ngʼamutunuulidde nkaliriza nʼamaaso agatatya nʼamugamba nti,
14“Nnina ssaddaaka ezʼebiweebwayo olwʼemirembe, leero ntukiriza obweyamo bwange.
15Noolwekyo nzize okukusisinkana, mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
16Obuliri bwange mbwaze bulungi nʼengoye eza linena ava mu Misiri.
17Mbukubye nʼakaloosa, nʼomugavu, nʼobubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
18Jjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya; leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
19Kubanga baze taliiyo eka; yatambula olugendo luwanvu:
20Yagenda nʼensawo yʼensimbi; era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”
21Yamusendasenda nʼebigambo ebisikiriza; nʼamuwabya nʼebigambo ebiwoomerera.
22Amangwago omuvubuka nʼamugoberera ngʼente etwalibwa okuttibwa obanga empeewo egwa mu mutego,
23okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo, ngʼakanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego, so tamanyi ngʼalifiirwa obulamu bwe.