Engero 8:1-36 LGCB2014 - Bible AI

1Amagezi tegakoowoolera waggulu, nʼokutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?

2Ku ntikko yʼebifo ebigulumivu okumpi nʼekkubo, mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,

3ku mabbali gʼenzigi eziyingira mu kibuga, ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,

4Mmwe abantu, mmwe bʼempita; nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.

5Mmwe abatategeera mufune okutegeera; nammwe abasirusiru mufune amagezi.

6Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu ebyʼokubagamba, era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.

7Akamwa kange koogera bituufu byereere; kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.

8Ebigambo byʼemimwa gyange byonna bya bwenkanya tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.

9Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera, era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.

10Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange, era nʼokumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,

11kubanga amagezi gasinga amayinja agʼomuwendo omungi, era nʼebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.

12Nze Magezi, mbeera wamu nʼokuteesa okulungi, era mu nze mulimu okumanya nʼokwawula ekirungi nʼekibi.

13Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa amalala nʼokwemanya, nʼobuteeyisa bulungi nʼenjogera eyʼobubambaavu.

14Okuteesa okulungi nʼokusalawo okwʼamagezi bye byange; ntegeera era ndi wa buyinza.

15Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga, abafuzi ne bakola amateeka agʼobwenkanya.

16Abalangira bafuga ku bwange, nʼabakungu bonna abafuga ku nsi.

17Njagala abo abanjagala, nʼabo abanyiikira okunnoonya bandaba.

18Obugagga nʼekitiibwa biri mu nze, obugagga obutakoma nʼokukulaakulana.

19Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose, nʼebinvaamu bisinga ffeeza eyʼomuwendo omungi.

20Ntambulira mu kkubo eryʼobutuukirivu, mu kkubo eryʼobwenkanya,

21nʼabo abanjagala mbagaggawaza era nzijuza amawanika gaabwe.

22Mukama nze gwe yasooka okwoleka nga tannabaako kirala kyʼakola.

23Nateekebwawo dda nnyo, ku lubereberye ngʼensi tennabaawo.

24Nateekebwawo ngʼobuziba bwʼennyanja tebunnateekebwawo, nga nʼemigga egireeta amazzi teginnabaawo,

25ngʼensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo, nga nʼobusozi tebunnabaawo;

26nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo, wadde enfuufu eyasooka eyʼoku nsi.

27Naliwo ngʼateekawo eggulu mu kifo kyalyo, ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,

28ate ne bwe yawanika ebire nʼabinywereza waggulu mu bbanga, nʼanywereza ddala ensulo zʼamazzi,

29bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma, amazzi galeme kusukka we yagalagira, ne bwe yali ngʼalamba emisingi gyʼensi.

30Nnali naye ngʼomukozi omukugu, nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku, nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,

31nga nsanyukira mu nsi ye yonna, era nga ne nesiima olwʼabaana bʼabantu.

32Kale nno, batabani bange mumpulirize; balina omukisa abo abakwata amakubo gange!

33Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga nʼamagezi, so temugalekanga.

34Alina omukisa omuntu ampuliriza, alindirira nga bwʼakuuma ku nzigi zange buli lunaku.

35Kubanga buli andaba afuna obulamu, era afuna okuganja eri Mukama.

36Oyo atannoonya yeerumya yekka, era nʼabo bonna abankyawa banoonya kufa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.