Engero 9:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Amagezi gazimbye ennyumba yaago, gagizimbidde ku mpagi musanvu.

2Gategese ennyama yaago ne wayini[1] waago; gategese ekijjulo.

3Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere mu bifo ebigulumivu nti,

4“Buli atalina kutegeera akyameko wano!” Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,

5“Mujje mulye ku mmere yange era munywe ne ku wayini gwe ntabudde.

6Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu, era mutambulire mu kkubo lyʼokumanya.”

7Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa, nʼoyo abuulirira omukozi wʼebibi yeeretera kuvumibwa.

8Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye nenya owʼamagezi naye anaakwagalanga.

9Yigirizanga owʼamagezi naye aneeyongeranga okuba nʼamagezi, yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.

10“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era nʼokumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

11Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo, era olyongerwako emyaka.

12Bwʼobeera omugezi, amagezi go gakuyamba, naye bwʼonyooma amagezi weerumya wekka.”

13Omukazi omusirusiru aleekaana, taba na mpisa era taba na magezi!

14Era atuula mu mulyango gwʼennyumba ye, ne ku ntebe mu bifo ebyʼekibuga ebisinga obugulumivu,

15ngʼakoowoola abo abayitawo, ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.

16Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.” Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,

17“Amazzi amabbe nga gawooma! emmere eriibwa mu kyama ngʼewooma!”

18Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira, era nti abagenyi be bali mu buziba obwʼemagombe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.