1
2
3mu mwaka ogwokusatu ogwʼobufuzi bwe, yagabula abakungu nʼabaami be abakulu embaga. Abaduumizi ba magye aga Buperusi ne Bumeedi, nʼabalangira nʼabakungu bʼamasaza bonna baagiriko.
4Yayolesa obugagga nʼekitiibwa nʼettendo ebyʼobwakabaka bwe okumala emyezi mukaaga.
5Ennaku ezo bwe zaggwaako, Kabaka nʼagabula abantu bonna okuva ku asemberayo ddala okutuuka ku asingirayo ddala ekitiibwa embaga endala eyali mu luggya, mu lubiri e Susani okumala ennaku musanvu.
6Oluggya lwalimu entimbe ezʼengoye enjeru nʼeza bbululu, nga zisibiddwa nʼemiguwa egya linena omulungi nʼolugoye olwa kakobe nga lusibiddwa nʼempeta eza ffeeza ku mpagi ezʼamayinja aganyirira. Waaliwo nʼebitanda
7Mu kugabula kwa kabaka, wayini yaweerezebwa mu bikopo bya zaabu, nga buli kimu tekifanagana na kinnaakyo, ne wayini wa Kabaka yali mungi ddala.
8Buli mugenyi yanywanga nga bwe yayagala kubanga kabaka yalagira nti, “Buli mugenyi anywe nga bwʼayagala.”
9Ne Nnabagereka Vasuti naye nʼagabula abakyala embaga mu lubiri lwa Kabaka Akaswero.
10Awo ku lunaku olwomusanvu, Kabaka Akaswero mu ssanyu lingi olwa wayini gwe yali anywedde, nʼalagira abalaawe musanvu, abaamuweerezanga: Mekumani, ne Bizusa, ne Kalubona, ne Bigusa, ne Abagusa, ne Zesali ne Kalukasi,
11okugenda okuyita Nnabagereka Vasuti ajje mu maaso ge ngʼatikkiddwa engule eya Nnabagereka, asobole okulaga obubalagavu bwe eri abantu nʼabakungu, kubanga yali mulungi, mubalagavu okukamala.
12Naye abaweereza bwe baatuusa ekiragiro kya kabaka, Nnabagareka Vasuti nʼagaana okugenda. Era ekyavaamu kabaka nʼasunguwala, era obusungu bwe ne bubuubuuka.
13Naye Kabaka yalina empisa eyʼokwebuuzanga ku bakugu mu byʼamateeka, era nʼateesa nʼabasajja abagezigezi abategeera ebifa ku nsonga eyo.
14Amannya ga bakungu abo abakulu omusanvu mu bwakabaka bwe Buperusi ne Bumeedi ge gano: Kalusena, ne Sesali, ne Adumasa, ne Talusiisi, ne Meresi, ne Malusema ne Memukani. Bano be baamubeeranga ku lusegere.
15Awo Kabaka nʼababuuza nti, “Okusinziira ku mateeka, Nnabagereka Vasuti agwanidde kibonerezo ki olwʼobutagondera kiragiro kya Kabaka Akaswero ekimutuusibbwako abalaawe?”
16Memukani nʼaddamu Kabaka nʼabakungu nti, “Nnabagereka Vasuti asobezza nnyo, ate si eri Kabaka yekka, naye nʼeri abakungu nʼabantu bonna abʼomu bitundu byonna Kabaka Akaswero byʼafuga.
17Era olwʼenneeyisa Nnabagereka gye yeeyisizaamu, bwe kinaamanyibwa abakyala, nabo bajja kunyoomanga ba bbaabwe nga bagamba nti, ‘Nga Kabaka Akaswero yalagira Nnabagereka Vasuti okuleetebwa gyʼali, nʼajeema.’
18Era olunaku lwa leero abakyala bonna mu Buperusi ne Bumeedi aba bakungu abawulidde ku nneeyisa ya Nnabagereka bajjanga kweyisa mu ngeri yʼemu eri abakungu ba Kabaka. Era obunyoomi wamu nʼobutabanguko tebuggwengawo mu maka.
19Noolwekyo Kabaka bwʼanaasiima, awe ekiragiro, era kiwandiikibwe mu mateeka ga Buperusi ne Bumeedi agatakyuka, nti Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga Kabaka Akaswero. Ate nʼekifo kye ekyʼObwannabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga.
20Awo ekiragiro kya kabaka bwe kinaabuna mu bwakabaka bwonna, abakyala bonna banassangamu ba bbaabwe ekitiibwa okuva ku wawagulu okutuukira ddala ku wawansi asembayo.”
21Ekigambo ekyo kyasanyusa nnyo Kabaka nʼabakungu be, era Kabaka nʼakola ngʼekiteeso kya Memukani bwe kyali.
22Nʼaweereza obubaka eri ebitundu byonna ebyʼobwakabaka buli ssaza ebbaluwa yaayo, era buli bantu mu lulimi lwabwe nga bugamba nti buli musajja afugenga mu nnyumba ye.