1Kabaka Akaswero nʼasalira abantu bonna abʼobwakabaka bwe omusolo, abaabeeranga ku lukalu nʼabo abaabeeranga ku bizinga.
2Era ebikolwa bye byonna ebyʼobuyinza nʼamaanyi ge, nʼokutegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi, Kabaka bwe yamukuza, byawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka bʼe Bumeedi nʼe Buperusi.
3Moluddekaayi Omuyudaaya ye yali addirira Kabaka Akaswero mu buyinza, era yali mukulu mu Bayudaaya ate nga bamussaamu nnyo ekitiibwa, kubanga yakolanga bulungi abantu be, ate era ngʼayagaliza ezzadde lye lyonna emirembe.