Eseza 2:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Oluvannyuma, obusungu bwa Kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, yasigala ngʼalowooza ku Vasuti, kye yakola, nʼekyali kisaliddwawo.

2Awo abaddu ba Kabaka ne baleeta ekirowoozo nti, “Banoonyeze Kabaka omuwala ku bawala abato abalungi nga mbeerera.

3Kabaka alonde ababaka mu buli kitundu mu bwakabaka bwe, bamuleetere abawala abato ababalagavu abalungi mu lubiri lwe e Susani bakuumibwe mu nnyumba yʼabakyala. Era Kegayi omulaawe wa Kabaka avunaanyizibwe abawala abo, ngʼabawa ne byʼokulungiya byonna bye beetaaga.

4Awo omuwala anasiimibwa kabaka, ye anafuuka Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa kabaka, era nʼakissa mu nkola.

5Mu biro ebyo mu lubiri e Susani, waaliyo Omuyudaaya owʼomu kika kya Benyamini, erinnya lye Moluddekaayi, mutabani wa Yayiri, muzzukulu wa Simeeyi, muzzukulu wa Kiisi,

6 eyawaambibwa Nebukadduneeza, Kabaka we Babulooni nʼaleetebwa mu buwaŋŋanguse nga yʼomu ku basibe abaasibibwa ne Yekoniya, eyali Kabaka wa Yuda, okuva e Yerusaalemi.

7Moluddekaayi yalina omuwala omuto erinnya lye Kadasa, gwe yalinako oluganda, eyakulira mu mikono gye, kubanga yali mulekwa nga yafiirwa kitaawe ne nnyina. Erinnya lyʼomuwala ono eddala nga ye Eseza, era yali ngʼalabika bulungi nnyo.

8Awo olwatuuka ekiragiro kya Kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi, nga ne Eseza mwali ne baleetebwa mu lubiri e Susani ne bakwasibwa Kegayi eyali alabirira abakyala ba Kabaka.

9Eseza nʼasiimibwa Kegayi, era nʼamuwa ebintu ebyʼokulungiya, nʼemmere eyʼenjawulo. Era yamuwa nʼabazaana musanvu abaalondebwa okuva mu lubiri lwa Kabaka, era nʼamuteeka mu kifo ekisinga obulungi awakuumibwa abakyala.

10Eseza yali tamanyiddwa ggwanga lye, wadde ekika kye, kubanga Moluddekaayi yali amugaanye okulyogera.

11Buli lunaku Moluddekaayi yalagangako mu luggya lwʼennyumba ya bakyala okumanya ebyafanga ku Eseza.

12Awo oluwalo lwa buli muwala bwe lwatuukanga okugenda eri Kabaka Akaswero, omuwala oyo yalinanga okuba ngʼamaze emyezi kkumi nʼebiri egyʼokufumbirirwa, ngʼera mu bbanga eryo, emyezi omukaaga aba ngʼakozesa amafuta agʼomugavu nʼemyezi omukaaga omulala nga yeyambisa obuwoowo nʼebintu ebirala ebifumbirira.

13Bwʼatyo omuwala nʼalyokanga agenda eri Kabaka. Omuwala bwe yatuukanga okugenda ewa Kabaka yabanga wa ddembe okuweebwa kyonna kyʼayagala okuva mu nnyumba yʼabakyala.

14Yagendangayo kawungeezi, ate bwe bwakeeranga, nʼaddayo mu kifo ekirala era ekyʼabakyala ekyalabirirwanga Saasugazi, omulaawe wa Kabaka eyakuumanga abakyala ba Kabaka abalala. Era omuwala oyo teyaddanga wa Kabaka wabula ngʼamusiimye, era ngʼamutumizza.

15Awo oluwalo lwa Eseza omuwala eyakuzibwa Moluddekaayi, ate nga muwala wa Abikayiri, eyalina oluganda ku Moluddekaayi, bwe lwatuuka okugenda eri Kabaka, Eseza talina birala bye yasaba okuggyako ebyo Kegayi, omulaawe wa Kabaka bye yamuwa. Era Eseza nʼaganja mu maaso gʼabo bonna abaamutunuulira.

16Yatwalibwa eri Kabaka Akaswero mu lubiri lwe mu mwezi ogwʼekkumi, gwe mwezi Tebesi, mu mwaka ogwʼomusanvu ogwʼokufuga kwe.

17Kabaka nʼayagala nnyo Eseza okukira abakyala abalala bonna, era nʼaganja mu maaso ge okusinga abawala embeerera bonna. Nʼamutikkira engule okuba Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.

18Awo Kabaka nʼakolera Eseza embaga ennene, nʼayita abakungu be wamu nʼabaami be, era nʼalangirira abantu okusonyiyibwa emisolo mu bitundu byonna, ate nʼagaba nʼebirabo nga bwe yayagala.

19Olunaku olumu Moluddekaayi bwe yali ngʼatudde ku wankaaki wʼolubiri lwa Kabaka, abawala ne bakuŋŋaanira eri Kabaka omulundi ogwokubiri.

20Eseza yakuuma ekyama Moluddekaayi kye yali amukuutidde, ekyʼobutayogera ekika kye newaakubadde eggwanga lye.

21Awo mu biro ebyo Moluddekaayi ngʼatudde ku wankaaki wa Kabaka, abalaawe ba Kabaka babiri, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga omulyango, ne banyiigira Kabaka Akaswero, era ne bateesa okumutemula.

22Naye Moluddekaayi nʼagwa mu lukwe olwo, nʼategeezaako Eseza Nnabagereka, eyagenda nʼabuulira Kabaka nga Moluddekaayi bwe yamutegeeza.

23Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo ekyʼebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>