Eseza 3:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1Oluvannyuma lwʼebyo Kabaka Akaswero nʼakuza Kamani mutabani wa Kammedasa, Omwagaagi era nʼamusukkiriza nʼamuwa nʼentebe eyʼekitiibwa okusinga abakungu abalala bonna.

2Era abaddu ba Kabaka bonna abaabeeranga ku wankaaki wa Kabaka baamufukaamiriranga ne bamuwa ekitiibwa, kubanga kyali kiragiro ekyava eri Kabaka. Naye Moluddekaayi teyamufukaamirira wadde okumussaamu ekitiibwa.

3Awo abagalagala ba Kabaka abʼoku wankaaki ne babuuza Moluddekaayi nti, “Nsonga ki ekulobera okugondera ekiragiro kya Kabaka?”

4Buli lunaku baayogeranga naye ku nsonga eyo naye ye nʼagaana okubawuliriza. Ekyavaamu kwe kubuulira Kamani ku nsonga yʼemu, balabe oba Moluddekaayi anaakyusa ku nneeyisa ye, kubanga yali yabategeezaako nti Muyudaaya.

5Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi tamufukaamirira wadde okumussaamu ekitiibwa, Kamani nʼasunguwala nnyo.

6Bwe yategeera abantu ba Moluddekaayi kye bali, Kamani nʼalaba ngʼokumutta yekka tekigasa. Kamani nʼanoonya engeri gyʼayinza okuzikiriza abantu ba Moluddekaayi, Abayudaaya bonna mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero.

7Awo mu mwezi ogwʼolubereberye ogwa Nisani, mu mwaka ogwʼekkumi nʼebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, ke kalulu, mu maaso ga Kamani okufuna olunaku nʼomwezi, era omwezi ogwʼekkumi nʼebiri ogwa Adali ne gulondebwa.

8Awo Kamani nʼagamba Kabaka Akaswero nti, “Waliwo abantu abasaasaanye ate nga beeyawudde ku mawanga mu bitundu byonna ebyʼobwakabaka bwo; nʼamateeka gaabwe ga njawulo ku gʼabantu abalala bonna, era tebakuuma mateeka ga Kabaka. Noolwekyo tekigasa Kabaka kubagumiikiriza.

9Kabaka bwʼanasiima, kiwandiikibwe era kiyisibwe, nʼokuzikirizibwa bazikirizibwe: nange ndisasula ttalanta eza ttani ebikumi bisatu mu nsavu mu ttaano[3] ebya ffeeza mu ggwanika lya Kabaka.”

10Awo kabaka nʼaggya empeta[4] ye ku ngalo ye nʼagiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe wʼAbayudaaya.

11Ate era Kabaka nʼagamba Kamani nti, “Ensimbi zikuweereddwa nʼabantu bakole nga bwʼosiima.”

12Ne bayita abawandiisi ba Kabaka ku lunaku olwʼekkumi nʼessatu mu mwezi ogwʼolubereberye, ne bawandiika byonna nga Kamani bwe yalagira, ne bawandiikira abaamasaza ne bagavana ba buli kitundu, nʼabakungu ba buli ggwanga; era nʼeri buli kitundu ngʼempandiika yaakyo bwe yali, nʼeri buli ggwanga ngʼolulimi lwabwe bwe lwali; byawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Akaswero era ne biteekebwako akabonero nʼempeta ya Kabaka.

13Ebbaluwa zaatwalibwa ababaka mu bitundu byonna ebya Kabaka nʼekiragiro, ekyʼokuzikiriza, nʼokutta nʼokumalawo Abayudaaya bonna, abato nʼabakadde, abaana abato nʼabakazi mu lunaku lumu olwʼekkumi nʼessatu mu mwezi ogwʼekkumi nʼebiri ogwa Adali, awamu nʼokunyaga ebyabwe byonna.

14Ebyaggyibwa mu kiwandiike ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro ne kirangirirwa mu buli kitundu, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo.

15Awo ababaka ne banguwa okugenda olwʼekiragiro kya Kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lwʼe Susani. Awo Kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kisasamala.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>