Eseza 4:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, nʼayuza ebyambalo bye nʼayambala ebibukutu ne yeesiiga evvu, nʼafuluma nʼagenda mu kibuga wakati, nʼakaaba nʼeddoboozi ddene olwʼennaku ennyingi:

2naye nʼakoma ku wankaaki wa kabaka, kubanga tewali eyakirizibwanga okuyingira mu mulyango gwa Kabaka ngʼayambadde ebibukutu.

3Mu buli kitundu ekiragiro kya Kabaka nʼetteeka lye gye byatuukanga ne waba okukuba ebiwoobe bingi nʼokusiiba nʼokukaaba amaziga mangi mu Bayudaaya era bangi ku bo ne bambala ebibukutu.[5]

4Awo abaweereza ba Eseza abakazi nʼabalaawe be ne bajja gyali okumutegeeza ku bibadde wo, era Nnabagereka nʼanakuwala nnyo: nʼaweereza Moluddekaayi ebyambalo yeyambulemu ebibukutu bye yali ayambadde naye Moluddekaayi nʼatabikkiriza.

5Eseza nʼatumya Kasaki omu ku balaawe ba Kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza nʼamukuutira okugenda okumanya ekizibu ekyali kituuse ku Moluddekaayi era nʼensonga.

6Awo Kasaki nʼafuluma nʼagenda ebweru mu kifo ekigazi ekyʼekibuga ekyayolekera omulyango gwa Kabaka, Moluddekaayi gye yali.

7Moluddekaayi nʼamutegeeza byonna ebyamutuukako, nʼomuwendo gwʼensimbi Kamani gwe yali asuubizza okuteeka mu ggwanika lya Kabaka olwʼokuzikiriza Abayudaaya.

8Era nʼamuwa nʼebyaggyibwa mu kiwandiiko ekyʼetteeka eryalaalikibwa mu Susani, okuliraga Eseza nʼokulimunnyonnyola ate era nʼokukuutira Eseza okugenda amwegayiririre ye nʼabantu be eri Kabaka.

9Amangwago Kasaki nʼagenda nʼabuulira Eseza ebigambo Moluddekaayi bye yali amutegeezezza.

10Awo Eseza nʼalagira Kasaki okuzzaayo obubaka ewa Moluddekaayi nti,

11“Abakungu ba kabaka bonna nʼabantu bonna abʼomu bitundu byonna ebyʼobwakabaka bakimanyi nti Tewali musajja oba mukyala eyeeyanjula mu maaso ga Kabaka mu luggya olwʼomunda ngʼatayitiddwa kabaka. Era waliwo nʼetteeka nti akolanga bwʼatyo attibwenga, wabula nga Kabaka amugololedde omuggo gwe ogwa zaabu, nʼaba omulamu. Naye wayiseewo ennaku amakumi asatu kasookedde mpitibwa kugenda wa kabaka.”

12Ebigambo ebyo bwe byatuuka ku Moluddekaayi,

13Moluddekaayi nʼamuddamu nti, “Tolowooza nti olwʼokuba oli mu lubiri lwa Kabaka, gwe onowonawo wekka mu Bayudaaya bonna.

14Kubanga ggwe bwʼonoosirika mu kiseera kino, okubeerwa nʼokulokolebwa kwa Bayudaaya kuliva awalala, naye ggwe nʼennyumba ya Kitaawo mulizikizibwa. Ate ani amanyi obanga wafuulibwa Nnabagereka lwa kiseera kino?”

15Awo Eseza nʼaweereza obubaka eri Moluddekaayi nti,

16“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susani, musiibe ku lwange, so temulya wadde okunywa ekintu emisana nʼekiro okumala ennaku ssatu. Nze nʼabaweereza bange abakyala tunaasiibira wamu nammwe. Ekyo nga kiwedde, ndigenda eri Kabaka, newaakubadde nga tekikkirizibwa mu mateeka. Bwe ndiba owʼokuzikirira, nzikirira.”

17Amangwago Moluddekaayi nʼagenda, era nʼakola byonna Eseza bye yamulagira.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>