Eseza 5:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ku lunaku olwokusatu, Kabaka yali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka mu kisenge ekinene ekyolekera omulyango, Eseza nʼayambala ebyambalo bye ebyobwannabagereka, nʼayimirira mu luggya olwʼomunda olwokubiri okwolekera ekisenge ekyo ekinene.

2Kabaka bwe yalengera Nnabagereka Eseza ngʼayimiridde mu luggya, nʼaganja mu maaso ge era nʼamugololera omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza nʼasembera nʼakoma ku musa gwʼomuggo.

3Kabaka nʼalyoka amubuuza nti, “Oyagala ki Nnabagereka Eseza? Era kiki kyʼosaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu kyʼobwakabaka.”

4Awo Eseza nʼaddamu nti, “Kabaka bwʼanaasiima, ajje ne Kamani leero ku mbaga gye nfumbidde Kabaka.”

5Amangwago Kabaka nʼagamba nti, “Mwanguwe okuyita Kamani ajje tugende ku mbaga Eseza gyateeseteese.”

6Awo bwe baali banywa wayini, Kabaka nʼaddamu nʼabuuza Eseza nti, “Wegayirira ki era osaba ki? Kinaakuweebwa. Ne bwe kinaaba ekitundu kyʼobwakabaka kinaakuweebwa.”

7Eseza nʼamugamba nti, “Kye negayirira era kye nsaba kye kino.

8Obanga ŋŋanze mu maaso ga Kabaka era ngʼanaasiima okuddamu okusaba kwange, nʼokutuukiriza kye neegayirira, nkusaba kabaka ne Kamani mujje enkya ku mbaga gye nnaabategekera. Olwo nno, nzija kuddamu ekibuuzo kya kabaka.”

9Ku lunaku olwo Kamani nʼafuluma nga musanyufu era ngʼajaguza mu mwoyo. Naye bwe yalaba Moluddekaayi mu wankaaki wa Kabaka, nga tayimuse wadde okulaga nti amussaamu ekitiibwa, Kamani nʼasunguwalira nnyo Moluddekaayi.

10Wakati mu ebyo byonna Kamani nʼazibiikiriza era nʼaddayo eka.

10Oluvannyuma nʼatumya mukyala we Zeresi ne mikwano gye,

11era nʼabeewaanirako ekitiibwa nʼobugagga bwe, bwe byenkana obungi, nʼabaana be bwe benkana obungi, nʼebitiibwa byonna Kabaka bye yamuwa, ate ne bwe yakuzibwa okusinga abakungu ba Kabaka nʼabaana be.

12“Ate si ekyo kyokka,” Kamani nʼayongerako na kino nti, “Nnabagereka Eseza teyaganyizza muntu mulala nʼomu kuwerekera Kabaka ku mbaga gye yategese, wabula nze; era nʼenkya ampise ŋŋende wamu ne Kabaka.

13Naye ebyo byonna tebimpa mirembe nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ngʼatudde ku wankaaki wa Kabaka.”

14Awo mukazi we Zeresi ne mikwano gye gyonna ne bamugamba nti, “Bazimbe akalabba obuwanvu bwako, mita amakumi abiri mu ssatu, enkya bwʼonooyogera ne Kabaka, Moluddekaayi anaawanikibwa okwo, kale olyoke ogende ku mbaga ne Kabaka ngʼoli musanyufu.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa nnyo Kamani, era akalabba ne kazimbibwa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>