Eseza 6:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Ekiro ekyo Kabaka teyayinza kwebaka; era nʼalagira ekitabo ekyʼebijjukizo ekyʼebigambo ebya buli lunaku, bisomebwe mu maaso ge.

2 Awo ne kisangibwa mu byafaayo nti Moluddekaayi yamanya olukwe lwa Bigusani ne Teresi babiri ku balaawe ba Kabaka abaali bakuuma omulyango nga baali bagezaako okutta Kabaka Akaswero, era nga Moluddekaayi ye yabaloopayo.

3Kabaka nʼabuuza nti, “Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olwʼekyo?” Awo abaweereza ba Kabaka ne baddamu nti, “Tewali kintu kye yali aweereddwa.”

4Awo Kabaka nʼabuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Kamani yali yakayingira mu luggya olwʼebweru olwʼoku lubiri lwa Kabaka, nga azze okwogera ne Kabaka ku kigambo ekyʼokuwanika Moluddekaayi ku kalabba Kamani ke yali amuzimbidde.

5Amangwago abaweereza ne baddamu nti, “Kamani wuuno waali ayimiridde mu luggya.” Kabaka nʼayogera nti, “Mumukkirize ayingire.”

6Awo Kamani nʼayingira, Kabaka nʼamubuuza nti, “Anaakolebwa ki omusajja Kabaka gwʼasanyukira era gwʼayagala okuwa ekitiibwa?” Kamani nʼalowooza mu mutima gwe nti, “Ani Kabaka gwe yandisanyukidde okumuwa ekitiibwa okusinga nze?”

7Kamani nʼaddamu Kabaka nti, “Omusajja Kabaka gwʼasanyukira okumuwa ekitiibwa,

8bamuleetere ebyambalo Kabaka bye yali ayambaddemu, nʼembalaasi Kabaka gye yali yeebagadde atikkirweko engule eyʼobwakabaka ku mutwe.

9Ebyambalo ne mbalaasi bikwasibwe omu ku bakungu kabaka basinga okuwa ekitiibwa, nʼoluvannyuma omusajja oyo kabaka gwʼayagala okuwa ekitiibwa ayambazibwe ebyambalo ebyo era yeebagale nʼembalaasi, era omulangira Kabaka gwʼanaalonda amukulembere mu nguudo zʼekibuga ngʼalangirira waggulu nti, ‘Bwʼatyo bwʼanaakolebwa omusajja Kabaka gwʼasiima okuwa ekitiibwa!’ ”

10Awo Kabaka nʼalagira Kamani nti, “Yanguwa ofune ebyambalo nʼembalaasi nga bwʼoyogedde, okolere ddala bwʼotyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku wankaaki wa Kabaka, ate waleme okubulako nʼekimu ku ebyo byonna byʼoyogedde.”

11Awo Kamani nʼaddira ebyambalo, nʼayambaza Moluddekaayi, nʼamwebagaza ku mbalaasi, era nʼamukulembera mu nguudo zʼekibuga ngʼalangirira mu maaso ge nti, “Bwʼatyo bwʼakoleddwa omusajja Kabaka gwʼasiima okuwa ekitiibwa.”

12Oluvannyuma Moluddekaayi nʼakomawo ku wankaaki wa Kabaka, naye Kamani nʼayanguwa nʼaddayo ewuwe, ngʼanakuwadde era ngʼabisse ku mutwe gwe,

13nʼategeeza Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebimutuuseeko.

13Awo abamuwa amagezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti, “Engeri Moluddekaayi gwʼotanulidde okugwa mu maaso ge, nga bwʼava mu ggwanga lya Bayudaaya, tojja kumusinga, era tolirema kuzikirira mu maaso ge.”

14Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba Kabaka ne batuuka, ne banguwa okutwala Kamani ku mbaga Eseza gye yali afumbye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>