Eseza 7:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Kabaka ne Kamani ne bagenda ku mbaga ya Nnabagereka Eseza gye yateekateeka.

2Ku lunaku olwokubiri bwe baali banywa wayini Kabaka nʼaddamu nʼabuuza Eseza nti, “Nnabagereka Eseza osaba ki? Onookiweebwa. Kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu kyʼobwakabaka, kinaakuweebwa.”

3Awo Eseza nʼaddamu nti, “Obanga ŋŋanze mu maaso go, ayi Kabaka, era Oweekitiibwa bwʼonoosiima, kino kyʼensaba, mpeebwe obulamu bwange. Ate era nʼabantu bange bawonye obulamu bwabwe. Kino kye nneegayirira.

4Nze nʼabantu bange tutuundiddwa eri okuzikirizibwa, okuttibwa nʼokubula. Wakiri singa tutuundiddwa okuba abaddu nʼabakazi abaweereza, nandisirise ne sikuteganya newaakubadde nga omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bwe yandifiiriddwa.”

5Awo Kabaka Akaswero nʼabuuza Nnabagereka Eseza nti, “Ani era ali ludda wa oyo ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bwʼatyo?”

6Awo Eseza nʼaddamu nti, “Omulabe waffe, atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Kamani nʼatya nnyo mu maaso ga Kabaka ne Nnabagereka.

7Awo Kabaka nʼagolokoka ngʼaliko ekiruyi, nʼaleka wayini we, nʼalaga ebweru mu nnimiro eyʼomu lubiri. Kamani bwe yalaba nga Kabaka amaliridde okumubonereza, nʼasigala emabega okusaba obulamu bwe eri Nnabagereka Eseza.

8Kabaka nʼakomawo okuva mu nnimiro eyʼomu lubiri nʼayingira mu kifo ekyʼembaga, nʼasanga Kamani ngʼagudde ku ntebe eyʼolugalamiriro Eseza kwe yali. Kabaka ne yeekanga nnyo era nʼakangula eddoboozi ngʼagamba nti, “Nʼokukwata ayagala kukwatira Nnabagereka mu maaso gange wano mu nnyumba?” Kabaka bwe yali nga yakamala okwogera ekigambo ekyo, ne babikka ku maaso[6] ga Kamani.

9Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali baweereza Kabaka nʼayogera nti, “Waliwo akalabba kumpi ne nnyumba ya Kamani obuwanvu bwako mita amakumi abiri mu ssatu ke yazimba okuttirako Moluddekaayi eyayogera nʼawonya obulamu bwa Kabaka.” Kabaka nʼagamba nti, “Mumuwanike okwo.”

10Awo ne bawanika Kamani ku kalabba ke yali azimbidde Moluddekaayi, olwo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>