Eseza 8:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ku lunaku olwo Kabaka Akaswero nʼawa Nnabagereka Eseza ebintu byonna[7] ebya Kamani omulabe wʼAbayudaaya. Eseza nʼategeeza Kabaka nti alina oluganda ku Moluddekaayi, era okuva mu kiseera ekyo Moluddekaayi nʼajjanga mu maaso ga Kabaka.

2Kabaka nʼaggyako empeta ye gye yaggya ku Kamani nʼagiwa Moluddekaayi, ate era ne Eseza nʼafuula Moluddekaayi okuvunaanyizibwa ebintu ebyali ebya Kamani.

3Awo Eseza nʼagenda ewa Kabaka nate ngʼamwegayirira ngʼagwa ku bigere bye nʼokukaaba nga bwʼakaaba, ngʼamusaba akomye enteekateeka embi zonna eza Kamani Omwagaagi, nʼenkwe ze yali asalidde Abayudaaya.

4Kabaka nʼagololera Eseza omuggo ogwa zaabu, amangu ago Eseza nʼagolokoka nʼayimirira mu maaso ga Kabaka.

5Eseza nʼayogera nti, “Kabaka bwʼanasiima, era obanga ŋŋaanze mu maaso ga Kabaka, nange obanga musanyusa, bawandiike ekiragiro okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi, ze yayiiya era nʼawandiika okuzikiriza Abayudaaya mu bitundu byonna ebya kabaka.

6Nnyinza ntya okugumiikiriza okulaba obulabe obulijja ku bantu bange, era nʼokulaba okuzikirizibwa okwʼennyumba yange?”

7Awo Kabaka Akaswero nʼagamba Nnabagereka Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti, “Olwʼokuba Kamani yali ayagala kuzikiriza Abayudaaya, ebintu bye mbiwadde Eseza, era nʼokuwanikibwa awanikibbwa ku Kalabba.

8Noolwekyo muwandiike ekiwandiiko ekirala mu linnya lya Kabaka ku lwʼAbayudaaya nga bwe musiima, era mukisseeko akabonero nʼempeta ya Kabaka, kubanga tewali kiwandiiko ekiwandiikiddwa mu linnya lya Kabaka era ekiteekeddwako akabonero nʼempeta ya Kabaka ekiyinza okujjululwa.”

9Ku lunaku olwʼamakumi abiri mu esatu mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi Sivaani abawandiisi ba Kabaka ne bayitibwa ne bawandiika byonna Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ebbaluwa nʼeweerezebwa eri abaamasaza, ne bagavana nʼabakungu abaafuganga mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya. Ebiragiro byʼawandiikibwa eri buli ssaza ngʼempandiika yaalyo bwe yali, nʼeri buli ggwanga ngʼolulimi lwabwe bwe lwali, nʼeri Abayudaaya mu mpandiika yaabwe era ne mu lulimi lwabwe.

10Moluddekaayi nʼawandiika mu linnya lya Kabaka Akaswero, ebbaluwa nʼazissaako akabonero nʼempeta ya Kabaka, nʼaziweereza zitwalibwe ababaka abeebagala embalaasi ezidduka ennyo ate nga zaakuzibwa mu bisibo bya Kabaka.

11Ekiragiro kya Kabaka kyʼawa Abayudaaya mu buli kibuga olukusa okukuŋŋaana nʼokwekuuma; okuzikiriza, nʼokutta, nʼokusaanyaawo eggye lyonna eryʼeggwanga lyonna oba essaza lyonna erinaabalumba, abakazi baabwe nʼabaana baabwe abato, ate era nʼokunyaga ebintu byʼabalabe baabwe.

12Olunaku olwalondebwa Abayudaaya okukola bino mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero lwe lwali olunaku olwʼekkumi nʼessatu mu mwezi ogwʼekkumi nʼebiri, gwe mwezi Adali.

13Ebyaggyibwa mu kiragiro ekyo byali bya kuba nga tteeka mu buli kitundu, era nʼokumanyibwa eri abantu aba buli ggwanga, nti ku lunaku olwo Abayudaaya beeteekereteekere okulwanyisa abalabe baabwe.

14Awo ababaka abeebagala embalaasi za Kabaka, ne bagenda mbiro, ku kiragiro kya Kabaka, era nʼekiragiro ekiwandiikiddwa ne kirangirirwa mu lubiri lwʼe Susani.

15Awo Moluddekaayi nʼava mu maaso ga Kabaka ngʼayambadde ebyambalo bya Kabaka ebya kaniki nʼebyeru, era ngʼatikkiddwa engule ennene eya zaabu, era ngʼayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi nʼolugoye olwʼeffulungu. Ekibuga ekya Susani ne kisanyuka nnyo.

16Ate nʼeri Abayudaaya kyali kiseera kya ssanyu, nʼokujaguza nʼekitiibwa.

17Mu buli kitundu, ne mu buli kibuga, ekiragiro kya Kabaka we kyatuuka, waaliyo essanyu nʼokujaguza nʼembaga nnene ddala mu Bayudaaya. Era abantu bangi abamawanga amalala ne bafuuka Abayudaaya olwʼentiisa eyʼAbayudaaya eyali ebakutte.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>