1Ku lunaku olwʼekkumi nʼebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe bʼAbayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa.
2Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna ebitundu byonna ebya Kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubaleetako obulabe, so tewaali muntu eyayaŋŋanga okubayinza, kubanga entiisa yali egudde ku bantu bonna abamawanga gonna.
3Awo abakungu bonna abʼebitundu, nʼabaamasaza, ne bagavana nʼabasigire ba kabaka abaafuganga ne bayamba Abayudaaya, kubanga entiisa yali ebakutte olwa Moluddekaayi.
4Moluddekaayi yali akulaakulanye mu lubiri, era nʼettutumu lye ne lyatiikirira okubuna ebitundu byonna, ate era ne yeeyongera amaanyi nʼobuyinza.
5Awo Abayudaaya ne batta era ne bazikiriza abalabe baabwe bonna nʼekitala, era ne bakola nga bwe baayagala abo abaabakyawa.
6Mu lubiri olwʼe Susani, Abayudaaya batta ne bazikiriza abasajja ebikumi bitaano.
7Ate era batta Palusandasa, ne Dalufoni, ne Asupasa,
8Polasa, ne Adaliya, ne Alidasa,
9Palumasuta, ne Alisayi, ne Alidayi, ne Vaizasa
10abatabani ekkumi aba Kamani mutabani wa Kammedasa omulabe wʼAbayudaaya. Naye tebaakwata ku munyago.
11Ku lunaku olwo, Kabaka nʼategeezebwa omuwendo gwʼabo abattibwa mu lubiri e Susani.
12Awo Kabaka nʼagamba Nnabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse era bazikirizza abasajja ebikumi bitaano, ate era ne batabani ba Kamani ekkumi nabo battiddwa. Kale kyenkana wa kye bakoze mu bitundu bya Kabaka ebirala? Kiki kyʼosaba kaakano? Onookiweebwa. Era kiki kye weegayirira? Kale nʼakyo kinaakolebwa.”
13Eseza nʼaddamu nti, “Kabaka bwʼanaasiima, enkya Abayudaaya baweebwe olukusa okukola nga ekiragiro ekya leero bwe kibadde era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi giwanikibwe ku miti.”
14Amangwago Kabaka nʼalagira kikolebwe. Ekiragiro ne kirangirirwa mu Susani, era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi ne giwanikibwa.
15Awo ku lunaku olwʼekkumi nʼenya mu mwezi ogwa Adali, Abayudaaya mu Susani ne beekuŋŋaanya, era ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani, naye ne batakwata ku munyago.
16Mu kiseera kyekimu Abayudaaya abalala abaali mu bitundu bya Kabaka nabo ne bakuŋŋaana okwerwanirira, nʼokufuna ne bafuna okuwummula eri abalabe baabwe. Ne batta emitwalo nsanvu mu etaano ku bo naye ne batakwata ku munyago.
17Bino byabaawo ku lunaku olwʼekkumi nʼessatu mu mwezi ogwa Adali, ku lunaku olwʼekkumi nʼennya ne bawummula era ne balufuula lunaku lwa kuliirangako mbaga nʼolwʼokusanyukirangako.
18Abayudaaya abʼomu Susani ne bakuŋŋaananga ku lunaku olwʼekkumi nʼessatu ne ku lunaku olwʼekkumi nʼennya, ate ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olwʼokuliirangako embaga nʼokusanyukirangako.
19Abayudaaya abʼomu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olwʼekkumi nʼennya olwʼomwezi Adali okuba olunaku okuliirangako embaga nʼolwʼokusanyukirangako, era olunaku olwʼokuweerazaganirako ebirabo.
20Awo Moluddekaayi nʼawandiika ebyabaawo byonna, era nʼaweereza Abayudaaya bonna abaali mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero ebbaluwa, mu matwale agʼokumpi nʼagewala,
21ngʼabalagira okukuumanga olunaku olwʼekkumi nʼennya nʼolwʼekkumi nʼettaano mu mwezi ogwa Adali nga lwa mbaga,
22era nga kye kiseera Abayudaaya kye baafunirako eddembe eri abalabe baabwe, ate era nga gwe mwezi obuyinike bwabwe lwe bwafuulibwa essanyu, nʼokunakuwala kwabwe ne kukoma. Moluddekaayi nʼabiwandiika okujjukira ennaku ezo ngʼennaku ezʼokuliirangako embaga nʼokusanyukirangako, ate era nʼokuweerezaganya ebyokulya ebirungi, era nʼokugabiranga abaavu ebirabo.
23Awo Abayudaaya ne basuubiza okukola nga bwe baatandika, nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira.
24
25Naye Eseza bwe yakimanyisa Kabaka, Kabaka nʼawa ekiragiro mu buwandiike nti olukwe olubi Kamani lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe, era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kalabba.
26Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ngʼerinnya lya Puli bwe liri. Awo olwʼebigambo byonna ebyawandiikibwa mu bbaluwa, nʼolwʼebyo bye baalaba, nʼebyabatuukako,
27Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza, era ne basuubiriza ezzadde lyabwe nʼabo bonna abanaabeegattangako, nti awatali kwekwasa nsonga yonna, bateekwa okukwatanga ennaku ezo zombi buli mwaka ngʼekiwandiiko kyazo bwe kyali era ngʼebiro byazo bwe byali.
28Ennaku ezo zijjukirwenga ku mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza era na buli kibuga, era ennaku zino eza Pulimu, Abayudaaya tebalekangayo okuzijagulizaangako, wadde okuzeerabira.
29Awo Nnabagereka Eseza muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika nʼobuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo eyookubiri eya Pulimu.
30Ebbaluwa ne ziweerezebwa, mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) ebyʼobwakabaka bwa Akaswero,
31nʼokuwa ebiragiro nti Ennaku ezo eza Pulimu zikuumibwenga mu biro byazo nga Omuyudaaya Moluddekaayi ne Nnabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeyama bo bennyini nʼezzadde lyabwe okusinziira ku biseera byabwe bye baayitamu ebyʼokusiiba nʼokukungubaga.
32Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu, era ne kiwandiikibwa mu byafaayo.