1Awo mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu mwezi ogwokuna ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, bwe nnali nga ndi mu buwaŋŋanguse ku mabbali gʼomugga Kebali, eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda.
2Ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, gwe gwali omwaka ogwokutaano ogwʼobuwaŋŋanguse bwa kabaka Yekoyakini,
3ekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi eyʼAbakaludaaya ku mabbali gʼomugga Kebali, nʼomukono gwa Mukama gwali ku ye.
4Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ngʼava mu bukiikakkono, nʼekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ngʼawali ekyuma ekimasamasa.
5Wakati mu muliro mwalabika ngʼomwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi kyʼomuntu.
6Buli kimu kyalina obwenyi buna, nʼebiwaawaatiro bina.
7Amagulu gaabyo gaali magolokofu, nʼebigere byabyo nga bifaanana ekigere kyʼennyana, era nga bitangalijja ngʼekikomo ekizigule.
8Byalina engalo ezʼomuntu wansi wʼebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi nʼebiwaawaatiro,
9era ebiwaawaatiro byabyo nga bisonga waggulu, buli kiwaawaatiro nga kikoona ku kinnaakyo. Buli kimu kyatambula nga kiraga mu maaso, nga tekikyuse kutunula mabega.
10Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi ekyʼomuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi ekyʼempologoma, nʼoluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi ekyʼente, ate nga birina nʼekyenyi kyʼemunyungu.
11Ebyenyi byabyo nʼebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo.
12Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega.
13Endabika eyʼebiramu ebyo yafaanana ngʼomuliro ogwaka ogwʼamanda oba omuliro ogwʼomumuli. Omuliro gwavanga mu maaso nʼemabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa.
14Ebiramu byetawulanga ngʼokumyansa okwʼeggulu.
15Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, nʼebyenyi byabyo ebina.
16Endabika eya zinnamuziga nʼokukolebwa kwazo kwali nga berulo,
17Era zeetoolooleranga mu njuyi zonna ennya, nga tezizinaazina ngʼebiramu bitambula.
18Empanka zaazo zaali mpanvu nga zitiisa, era empanka ennya zonna nga zijjuddemu amaaso.
19Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka.
20Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga.
21Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo owʼebiramu yabanga mu zinnamuziga.
22Waggulu wʼemitwe gyʼebiramu waliwo ekifaananyi ekyʼekifo ekigazi, ekyatemagananga ngʼomuzira.
23Wansi wʼekifo ekyo ekigazi ebiwaawaatiro byabyo byali bigolole, nga bituukagana, buli kiramu nga kirina ebiwaawaatiro bibiri ebyabikkanga emibiri gyabyo.
24Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kwʼebiwaawaatiro byabyo, ngʼokuwuuma kwʼamazzi amangi, ngʼeddoboozi lya Ayinzabyonna, ngʼoluyoogaano lwʼeggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
25Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu wʼekifo ekigazi waggulu wʼemitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo.
26Waggulu wʼekifo ekigazi waggulu wʼemitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe eyʼobwakabaka, eya safiro, ate waggulu wʼekifaananyi ekyʼentebe eyʼobwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ngʼomuntu.
27Ekyo nakirabira ku kyafaanana ngʼekiwato kye, okwambuka ngʼafaanana ngʼekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; nʼokuva mu kiwato kye okukka ngʼafaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna.
28Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olwʼenkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi ekyʼekitiibwa kya Mukama.