Ezeekyeri 10:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Ne ntunula, laba, ekifaananyi ekyʼentebe eyʼobwakabaka eya safiro nga kiri waggulu wʼekibangirizi wʼemitwe gya bakerubi.

2Mukama nʼagamba omusajja ayambadde linena nti, “Genda wakati wa zinnamuziga wansi wa bakerubi, otoole amanda mu mukono gwo okuva wakati mu bakerubi, ogasaasaanye mu kibuga.” Nʼayitawo nga ntunula.

3Bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olwʼObukiikaddyo obwa yeekaalu; omusajja bwe yayingira ekire ne kijjula mu luggya olwʼomunda.

4Awo ekitiibwa kya Mukama ne kyambuka okuva waggulu wa bakerubi ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu. Ekire ne kijjula mu yeekaalu, nʼoluggya ne lujjula okumasamasa okwʼekitiibwa kya Mukama.

5Nʼokuwuuma kwʼebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulikika wala mu luggya olwʼebweru, ngʼeddoboozi lya Mukama owʼEggye bwe liwulikika ngʼayogedde.

6Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde linena nti, “Toola omuliro okuva mu zinnamuziga, wakati mu bakerubi,” omusajja nʼayingira nʼayimirira ku mabbali ga nnamuziga emu.

7Awo omu ku bakerubi nʼagolola omukono gwe eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi, nʼaddira ogumu ku gwo, nʼaguteeka mu ngalo ezʼomusajja ayambadde linena, eyagutwala nʼafuluma.

8Wansi wʼebiwaawaatiro bya bakerubi waalabika ngʼawaali emikono gyʼomuntu.

9Ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi buli nnamuziga ngʼeriraanye kerubi, zinnamuziga nga ziyakaayakana ngʼejjinja erya berulo.

10Mu ndabika nga zifaanagana, nnamuziga emu ngʼeri ngʼetudde mu ginnaayo.

11Mu kuseeseetuka, zaaseeseetukanga mu njuyi nnya bakerubi gye baatunulanga, era zinnamuziga zʼomu maaso gye zaayiringitiranga, nʼendala zonna gye zaayiringitiranga.

12Omubiri gwabwe gwonna, nʼemigongo gyabwe, nʼemikono gyabwe, nʼebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga, nga zijjudde amaaso enjuuyi zonna.

13Ne mpulira zinnamuziga nga ziyitibwa “ezeetooloola eziwulukuka.”

14Buli emu ku zo yalina obwenyi buna: obwenyi obwʼolubereberye bwali bwa kerubi, obwokubiri nga bwa musajja, obwokusatu nga bwa mpologoma, obwokuna nga bwa mpungu.

15Awo bakerubi ne basituka. Bye biramu bye nalaba ku mabbali gʼomugga Kebali.

16Bakerubi bwe baaseeseetukanga, zinnamuziga ezaali ku mabbali ne ziseeseetukira wamu nabo; bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okusituka okuva ku ttaka, zinnamuziga nazo tezaavanga ku lusegere.

17Bakerubi bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira; bakerubi bwe baasitukanga, nnamuziga ne zisitukira wamu nabo, kubanga omwoyo owʼebiramu yali mu zo.

18Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiva ku mulyango gwa yeekaalu ne kiyimirira waggulu wa bakerubi.

19Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olwʼebuvanjuba olwa yeekaalu ya Mukama, nʼekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe.

20Era ebyo bye biramu bye nalaba wansi wa Katonda wa Isirayiri ku mugga Kebali, olwo ne ntegeera nga bakerubi.

21Buli omu yalina obwenyi buna ne biwaawaatiro bina, ne wansi wʼebiwaawaatiro byabwe nga waliyo ebyali ngʼemikono gyʼomuntu.

22Obwenyi bwabwe bwanfaananira nga buli bwe nalaba ku mugga Kebali. Buli omu nʼatambula nʼagenda mu maaso.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>