1Awo Omwoyo nʼansitula nʼantwala ku luggi olwʼebuvanjuba olwʼennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze bʼabantu.
2Mukama nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, bano be basajja abeekobaana okukola ebitali bya butuukirivu era abawabya ekibuga kino.
3Boogera nti, ‘Ekiseera tekituuse tuzimbe amayumba? Ekibuga kino ye ntamu, ffe nnyama.’
4Kyonoova obawa obunnabbi; era yogera ggwe omwana wʼomuntu.”
5Awo Omwoyo wa Mukama nʼanzikako, nʼaŋŋamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ggwe ennyumba ya Isirayiri, naye mmanyi ebirowoozo byammwe.
6Musse abantu bangi mu kibuga kino, ne mujjuza enguudo zaakyo abafu.
7“Mukama Katonda kyava ayogera nti, Emirambo gye musuddemu ye nnyama, nʼekibuga kino ye ntamu, naye ndikibagobamu.
8Mutya ekitala, era ekitala kye ndibaleetako, bwʼayogera Mukama Katonda.
9Ndibagoba mu kibuga, ne mbawaayo mu mukono gwa bannamawanga ne bababonereza.
10Muligwa nʼekitala, era ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri, ne mumanya nga nze Mukama.
11Ekibuga kino tekiriba ntamu yammwe, era nammwe temuliba nnyama yaakyo. Ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri.
12Mulitegeera nga nze Mukama, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ngʼamawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.”
13Awo bwe nnali nkyayogera ebyobunnabbi, Peratiya mutabani wa Benaya nʼafa. Ne ngwa bugazi wansi ne nkaaba nʼeddoboozi ddene, nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olimalirawo ddala ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo?”
14Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,
15“Omwana wʼomuntu, baganda bo, baganda bo abʼenda yo nʼennyumba yonna eya Isirayiri, beebo abantu abʼomu Yerusaalemi be baayogerako nti, ‘Bali wala ne Mukama, era ensi eno yatuweebwa okuba omugabo gwaffe.’ ”
16“Kyonoova oyogera nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’
17Era kyonoova oyogera nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti Ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’
18“Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna nʼebyʼemizizo ebirimu byonna.
19Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogwʼejjinja, ne mbawa omutima ogwʼennyama.
20Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe.
21Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu nʼebyʼemizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bwʼayogera Mukama Katonda.”
22Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ngʼekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu.
23Ekitiibwa kya Mukama ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu wʼolusozi oluli ku luuyi olwʼebuvanjuba wʼekibuga.
24Omwoyo nʼansitula mu kwolesebwa okwʼOmwoyo wa Katonda nʼantwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa.
25Awo okwolesebwa kwe nafuna ne nkuvaako, ne ntegeeza abaawaŋŋangusibwa byonna Mukama bye yali andaze.