1Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ngʼagamba nti,
2“Omwana wʼomuntu obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso okulaba, naye tebalaba, balina nʼamatu okuwulira naye tebawulira, kubanga bantu bajeemu.
3“Noolwekyo omwana wʼomuntu, sibako ebibyo ogende mu buwaŋŋanguse, ate kikole misana, nga balaba ogende mu kifo ekirala. Oboolyawo balitegeera, newaakubadde nga nnyumba njeemu.
4Fulumya ebibyo byʼotwala mu buwaŋŋanguse emisana, nga balaba. Ate akawungeezi, ofulume nga balaba, ogende ngʼabo abagenda mu buwaŋŋanguse.
5Botola ekituli mu bbugwe oyiseemu ebibyo, nga balaba.
6Biteeke ku kibegabega kyo nga balaba, obifulumye obudde nga buwungeera. Bikka ku maaso oleme okulaba ensi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.”
7Ne nkola nga bwe ndagiddwa. Emisana, ne nfulumya ebintu byange nga neetegese okugenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ne nkuba ekituli mu bbugwe nʼengalo zange, ne nfulumya ebyange nga mbitadde ku kibegabega kyange nga balaba, obudde nga buwungedde, enjuba ngʼebuliddeyo.
8Ku makya, ekigambo kya Mukama ne kinzijira ngʼagamba nti,
9“Omwana wʼomuntu, ennyumba ya Isirayiri enjeemu teyakubuuza nti, ‘Okola ki ekyo?’
10“Bagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, obubaka buno bukwata ku mufuzi ali mu Yerusaalemi, nʼabantu ba Isirayiri bonna abaliyo.’
11Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.’
12“Omufuzi ali mu bo aliteeka ebintu bye ku kibegabega kye agende ngʼobudde buwungedde, enjuba ngʼebuliddeyo, balibotola ekituli mu bbugwe ayitemu agende. Alibikka amaaso ge, aleme kulaba nsi.
13Ndimwanjuliriza ekitimba kyange, akwatibwe mu mutego gwange. Ndimutwala e Babulooni, mu nsi eyʼAbakaludaaya, naye taligiraba, era eyo gyʼalifiira.
14Ndisaasaanyiza eri empewo zonna, bonna abamwetoolodde, abakozi be nʼeggye lye lyonna era ndibawondera nʼekitala ekisowoddwa.
15“Balimanya nga nze Mukama bwe ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi.
16Kyokka ndirekawo batono ku bo abaliwona ekitala, nʼabaliwona enjala nʼabaliwona kawumpuli, balyoke bejjuse olwʼebikolwa byabwe ebyʼemizizo, nga bali eyo mu mawanga. Olwo balitegeera nga nze Mukama.”
17Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ngʼagamba nti,
18“Omwana wʼomuntu, lya emmere yo ngʼokankana, era nnywa amazzi go ngʼojugumira.”
19Tegeeza abantu abʼomu nsi nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda ku abo ababeera mu Yerusaalemi ne mu nsi ya Isirayiri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, banywe nʼamazzi gaabwe nga batya, kubanga ensi yaabwe erinyagibwa mu buli kintu ekirimu, olwʼobukambwe bwʼabo bonna ababeera eyo.
20Ebibuga ebituulwamu birizikirizibwa, nʼensi nʼefuuka amatongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”
21Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ngʼagamba nti,
22“Omwana wʼomuntu, makulu ki agali mu lugero olukwata ku nsi ya Isirayiri, olugamba nti, ‘Ennaku ziggwaayo naye teri kwolesebwa kutuukirira?’
23Bagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, ŋŋenda kukomya olugero luno, era tebaliddayo nate kulwogera, mu Isirayiri.’ Bagambe nti, ‘Ebiro binaatera okutuuka, okwolesebwa kwonna lwe kulituukirira.
24Tewaliba nate kwolesebwa kwa bulimba newaakubadde obunnabbi obusavuwaze mu bantu ba Isirayiri.
25Naye nze Mukama ndyogera kye ndisiima, era kirituukirira amangu ddala. Mu nnaku zo ggwe ennyumba enjeemu, ndyogera ekigambo era ndikituukiriza, bwʼayogera Mukama Katonda.’ ”
26Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ngʼagamba nti,
27Omwana wʼomuntu, laba, ennyumba ya Isirayiri egamba nti, “Okwolesebwa kwalaba kwʼamyaka mingi okuva ne kaakano, era ayogera obunnabbi obulibaawo mu bbanga eryʼewala.”
28“Noolwekyo bagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, tewalibaawo nate kigambo kyange na kimu ekirirwisibwa, buli kye njogera kirituukirira, bwʼayogera Mukama Katonda.’ ”