1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira ngʼagamba nti,
2“Omwana wʼomuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama.
3Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye.
4Isirayiri, bannabbi bo bali ngʼebibe ebitambulatambula mu bifulukwa.
5Temwambuse kuddaabiriza bbugwe nʼokuziba ebituli ebirimu ku lwʼennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa Mukama Katonda.
6Okwolesebwa kwabwe kukyamu, nʼokubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bwʼaba tabatumye boogera nti, “bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde.
7Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera nʼokubikkulirwa okwʼobulimba, bwe mwogedde nti, “Mukama bwʼati bwʼayogera,” newaakubadde nga mba soogedde?’ ”
8“ ‘Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, olwʼebigambo byo ebikyamu nʼolwʼokwolesebwa kwo okwʼobulimba, ndi mulabe wo.
9Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okwʼobulimba. Tebalituula mu kibiina ekyʼabantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala zʼennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda.
10“ ‘Olwʼokuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi,
11kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, nʼembuyaga ezʼamaanyi zirikunta.
12Bbugwe bwʼaligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?”
13“ ‘Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga owʼamaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza.
14Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, nʼomusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bwʼaligwa, alikugwiira nʼozikirizibwa, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda.
15Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze,
16abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera ebyʼobunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa owʼemirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bwʼayogera Mukama Katonda.” ’
17“Kaakano omwana wʼomuntu, amaaso go gateeke ku bawala bʼabantu bo aboogera ebyʼobunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti,
18‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo ebyʼobulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ezʼenjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bwʼabantu bange, naye ne weesigaliza obubwo?
19Onswazizza mu bantu bange olwʼembatu entono eza sayiri nʼolwʼobukunkumuka bwʼemigaati, bwʼosse abantu abatateekwa kuttibwa, ate nʼoleka abatateekwa kuba balamu, ngʼobalimba nabo ne bawuliriza ebyʼobulimba.
20“ ‘Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe wʼobulogo bwo, bwʼokozesa okuteega abantu ngʼateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ngʼebinyonyi nʼobasiba.
21Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda.
22Kubanga wanakuwaza abatuukirivu nʼobulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olwʼokuleetera abakozi bʼebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, nʼowonya obulamu bwabwe,
23kyʼoliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’ ”