Ezeekyeri 14:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja gye ndi, ne batuula mu maaso gange.

2Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira ngʼagamba nti,

3“Omwana wʼomuntu, abasajja bano batadde bakatonda abalala ku mitima gyabwe ne bateeka nʼebyesittaza mu maaso gaabwe. Mbakkirize banneebuuzeeko?

4Noolwekyo yogera gye bali obategeeze nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Omuyisirayiri yenna bwʼateeka bakatonda abalala ku mutima gwe, nʼateeka nʼebyesittaza mu maaso ge, nʼagenda eri nnabbi, nze kennyini, nze nnaamwanukulanga olwa bakatonda be abalala baayita abakulu.

5Bwe ntyo bwe ndikola okwewangulira emitima gyʼennyumba ya Isirayiri, bonna abaanvaako okugoberera bakatonda abalala.’

6“ ‘Noolwekyo tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Mwenenye muleke bakatonda bammwe, mulekeyo ebikolwa byammwe ebyʼekivve.

7“ ‘Omuyisirayiri yenna oba omugenyi abeera mu Isirayiri bwʼananvangako, nʼateeka bakatonda abalala ku mutima gwe nʼateeka nʼebyesittaza mu maaso ge, ate nʼagenda eri nnabbi okunneebuuzaako, nze Mukama nze nnaamwanukulanga.

8Omuntu oyo nnaamulwanyisanga ne mufuula ekyokulabirako era ekyʼokunyumyako. Ndimusalako ku bantu be, mulyoke mumanye nga nze Mukama.

9“ ‘Nnabbi bwʼanaasendebwasendebwanga okuwa obubaka ngʼategeeza nti nze Mukama Katonda nsenzesenze nnabbi oyo, ndigolola omukono gwange ku ye ne muzikiriza okumuggya mu bantu bange Isirayiri.

10Baliba bansingiddwa omusango, era nnabbi aliba asingiddwa omusango gwe gumu nʼoyo azze okumwebuuzaako.

11Olwo ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo nate kubula newaakubadde okweyonoona nʼebibi byabwe byonna. Baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe, bwʼayogera Mukama Katonda.’ ”

12Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira ngʼagamba nti,

13“Omwana wʼomuntu, ensi bwʼekola ebibi mu maaso gange nʼebeera etali nneesigwa, ne ngolola omukono gwange gyʼeri ne nsalako obugabirizi bwʼemmere yaabwe, ne mbasindikira ekyeya, ne nzita abantu baamu nʼensolo zaabwe,

14newaakubadde ngʼabasajja bano abasatu Nuuwa, ne Danyeri, ne Yobu bandibadde bagirimu, bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olwʼobutuukirivu bwabwe, bwʼayogera Mukama Katonda.

15“Oba newaakubadde nga nsindika ensolo enkambwe ezʼomu nsiko mu nsi eyo, ne zigyonoona ne zigireka nga temuli mwana nʼomu, nʼefuuka matongo, ne wataba nʼomu agiyitamu olwʼensolo ezo,

16ddala nga bwe ndi omulamu, abasajja abo abasatu tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe, bwʼayogera Mukama Katonda. Bo bokka be bandiwonye, naye ensi yandifuuse matongo.

17“Oba singa ndeeta ekitala ku nsi eyo ne njogera nti, ‘Leka ekitala kiyite mu nsi yonna,’ ne nzita abantu baamu nʼensolo zaabwe,

18nga bwe ndi omulamu, newaakubadde ngʼabasajja bano abasatu bandibadde bagirimu, tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe. Bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olwʼobutuukirivu bwabwe, bwʼayogera Mukama Katonda.

19“Oba singa ndeeta kawumpuli mu nsi eyo, ne mbafukako ekiruyi kyange, ne njiwa omusaayi mu nsi eyo, ne nzita abantu baamu ne nsolo zaabwe,

20nga bwe ndi omulamu, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandigibaddemu, tebandiwonyezza mutabani waabwe newaakubadde muwala waabwe. Bo bokka be nandiwonyezza olwʼobutuukirivu bwabwe, bwʼayogera Mukama Katonda.

21“Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Kiriba kitya bwe ndiweereza ebibonerezo byange ebina: ekitala nʼekyeya nʼensolo enkambwe ezʼomu nsiko ne kawumpuli, ku Yerusaalemi, okutta abantu baamu nʼensolo zaabwe!

22Naye ate nga walibaawo abamu abaliwona, abaana aboobulenzi nʼaboobuwala abaliggibwamu. Balijja gyʼoli, era bwʼoliraba enneeyisa yaabwe nʼebikolwa byabwe, olikkiriza akabi ke ndeese ku Yerusaalemi, buli kabi ke mmuleeseeko.

23Bwʼoliraba enneeyisa yaabwe nʼebikolwa byabwe olikkiriza nga sirina kye nkoze mu Yerusaalemi awatali nsonga, bwʼayogera Mukama Katonda.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>