Ezeekyeri 16:1-63 LGCB2014 - Bible AI

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, nʼaŋŋamba nti,

2Omwana wʼomuntu manyisa Yerusaalemi ebikolwa bye ebyʼekivve,

3oyogere nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda eri Yerusaalemi: Wasibuka era nʼozaalibwa mu nsi eyʼAbakanani; Kitaawo yali Mwamoli, ne nnyoko nga Mukiiti.

4Ku lunaku kwe wazaalirwa, tewasalibwa kkundi, so tewanaazibwa na mazzi kutukula, newaakubadde okusiigibwa omunnyo, newaakubadde okubikkibwa mu ngoye.

5Tewali yakusaasira so tewali yakukwatirwa kisa kukukolera ebintu ebyo byonna, naye wasuulibwa ebweru ku ttale, kubanga wanyoomebwa okuva ku lunaku kwe wazaalirwa.”

6“Bwe nnali nga mpitaayita ne nkulaba ngʼosambagala mu musaayi gwo, ne nkugamba nti, ‘Ba mulamu!’

7Ne nkukuza ne nkulabirira ngʼekimuli mu nnimiro. Nʼokula nʼowanvuwa nʼolabika bulungi nnyo mu maaso ngʼamayinja agʼomuwendo omungi; nʼosuna amabeere, nʼenviiri zo ne zikula, ggwe eyali obwereere nga tobikkiddwako.”

8“Oluvannyuma lwa bbanga, bwe nnali nga mpitaayita, ne nkulengera ne ndaba ngʼokuze era ngʼotuuse okufumbirwa, ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo; ne nkulayirira ne nkola naawe endagaano, bwʼayogera Mukama Katonda, nʼofuuka wange.

9Ne nkunaaza nʼamazzi, ne nkunaazaako omusaayi, ne nkusiigako amafuta.

10Ne nkwambaza olugoye oluliko omudalizo, ne nkuwa ne ngatto ezʼamaliba; ne nkwambaza olugoye olwa linena ne nkubikkako engoye ezʼomuwendo omungi.

11Ne kunaanika amayinja agʼomuwendo omungi; ne nkuteeka ebikomo ku mukono, nʼomukuufu mu bulago,

12ne nkuteeka empeta mu nnyindo, nʼebyʼomu matu ku matu, ne nkutikkira nʼengule ku mutwe.

13Wayonjebwa ne zaabu nʼeffeeza, nʼengoye zo zaali za linena, nʼebyambalo byo byali byamuwendo mungi era nga biriko omudalizo. Walyanga emmere eyʼobutta obulungi, nʼomubisi gwʼenjuki nʼomuzigo ogwʼomuzeyituuni. Walungiwa nnyo nʼotuuka ku mwaliiro eryʼobwa kabaka omukazi.

14Ettutumu lyo lyabuna mu mawanga olwʼobulungi bwo, kubanga nakuwa ekitiibwa kyange, bwʼayogera Mukama Katonda.”

15“Naye weesiga obulungi bwo, nʼokozesa ettutumu lyo okukola obwenzi, nʼofuka obukaba bwo ku buli eyayitangawo obulungi bwo ne bufuuka bubwe.

16Waddira ebimu ku byambalo byo ne weekolera ebifo ebigulumivu nga byamabala mangi, gye wakoleranga obwenzi bwo. Ebintu bwe bityo tebikolebwa, era tebikolebwanga.

17Ate era waddira emikuufu emirungi gye nnali nkuwadde, egyakolebwa mu zaabu nʼeffeeza bye nakuwa, ne weekolera bakatonda abalala abali mu bifaananyi ebyʼekisajja, bwʼotyo nʼokola ebyʼobwenzi nabyo,

18nʼoddira ebyambalo byo ebiriko emidalizo nʼobibikkako, nʼoteeka omuzigo gwange nʼobubaane bwange mu maaso gaabyo.

19Nʼemmere gye nnali nkuwadde, obuwunga obwʼobutta, nʼomuzigo ogwʼomuzeyituuni nʼomubisi gwʼenjuki bye nnali nkuwadde okulya, wabiwaayo okuba ebiweebwayo ebyʼevvumbe eddungi eri bbyo. Era bwʼotyo bwe wakola, bwʼayogera Mukama Katonda.”

20“Waddira batabani bo ne bawala bo be wanzaalira, nʼobawaayo ngʼebiweebwayo ebyʼemmere eri bakatonda abalala. Obwenzi bwe wakola bwali tebumala?

21Watta abaana bange nʼobawaayo ngʼebiweebwayo eri bakatonda abalala.

22Mu bikolwa byo byonna ebyʼekivve nʼobwenzi bwo, tewajjukira biseera ebyʼobuvubuka bwo, bwe wali obwereere nga toliiko bwʼoli, era ngʼosambagala mu musaayi gwo.”

23“Zikusanze! Zikusanze, bwʼayogera Mukama Katonda. Mu bikolwa byo ebibi byonna,

24weezimbira ekifo ekigulumivu ne weekolera nʼessabo mu buli kibangirizi ekigazi ekyʼekibuga.

25Buli luguudo we lusibuka, wazimbawo essabo lyo, nʼokolerawo obwenzi, ngʼowaayo omubiri gwo mu bukaba obungi eri buli eyayitangawo.

26Weetaba mu bwenzi ne baliraanwa bo abakaba Abamisiri, nʼoyongera ku bukaba bwo nʼonsunguwaza.

27Kyenava nkugololerako omukono gwange ne nkendeeza ku nsalo yo, ne nkuwaayo eri omululu gwʼabalabe bo abawala bʼAbafirisuuti, abeekanga olwʼobukaba bwo.

28Weetaba mu bikolwa ebyʼobwenzi nʼAbasuuli, kubanga tewamalibwa, ate nʼoluvannyuma lwʼekyo nʼotamatira.

29Nʼoluvannyuma nʼoyongerayo ebikolwa byo ebyʼobukaba mu Bakaludaaya, ensi eyʼebyamaguzi, naye era nʼotamalibwa.”

30“Omutima gwo nga munafu, nʼokwewaayo ne weewaayo okukola ebintu ebyo byonna, ne weeyisa ngʼomwenzi owʼamawaggali ateefiirayo.

31Bwe wazimba ebifo byo ebigulumivu buli luguudo we lusibuka, nʼoteeka amasabo go mu buli kibangirizi ekigazi, tewafaanana ngʼomwenzi kubanga wanyoomanga empeera.”

32“Ggwe omukazi omwenzi eyeegomba abatambuze okusinga balo!

33Buli mwenzi afuna empeera, naye ggwe owa baganzi bo bonna ebirabo, ngʼobagulirira okujja gyʼoli okuva buli wamu olwʼobwenzi bwo.

34Era mu bikolwa byo ebyʼobwenzi tofaanana ngʼabalala; tewali akusindika kukola bwenzi. Oli wanjawulo okuva ku balala kubanga osasula empeera, naye ate nga tewali akusasula.”

35“Kale nno, wulira ekigambo kya Mukama ggwe omwenzi.

36Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Olwʼobugagga bwo bwe walaga, nʼoyanika obwereere bwo wakati mu baganzi bo ngʼokola ebikolwa ebyʼobwenzi, nʼolwa bakatonda bo abalala abʼekivve, nʼokuwaayo omusaayi gwʼabaana bo,

37kyendiva nkuŋŋaanya baganzi bo bonna, be wasinza, bonna be wayagala ne be wakyawa, gyʼoli ne bakwetooloola, ne nkufungulirira mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo.

38Ndikusalira omusango ne nkuwa ekibonerezo ngʼekyʼabakazi abenzi nʼabo abayiwa omusaayi, ne nkuleetako omusaayi ogwʼekiruyi nʼobuggya.

39Nʼoluvannyuma ndikuwaayo mu mukono gwʼabaganzi bo; balimenyaamenya ebifo byo ebigulumivu, ne bazikiriza amasabo go. Era balikwambula ebyambalo byo, ne batwala ebyʼomuwendo byo, ne bakuleka ngʼoli bukunya.

40Balisendasenda enkuyanja yʼabantu, ne bakukuba amayinja, ne bakutemaatema obufiififi nʼebitala byabwe.

41Balyokya amayumba go ne bakubonereza mu maaso gʼabakyala abangi, era ndikulesaayo ebikolwa byo ebyʼobwenzi so tolisasula baganzi bo mpeera.

42Nʼoluvannyuma obusungu bwange bulikendeera, nʼobuggya bwange bulikuvaako, era ndiba mukkakkamu, nga sirina busungu.”

43“Kubanga tojjukira biseera ebyʼobuvubuka bwo, nʼonnyiiza nʼebintu ebyo byonna; kyendiva nkuleetako omusango olwʼebikolwa byo, bwʼayogera Mukama Katonda. Ku bukaba obwo bwonna si kwe wayongera ebikolwa ebyo byonna ebyʼekivve?”

44“Buli agera engero anaakugereranga olugero luno nga boogera nti, ‘Nnyina ne muwala we batyo.’

45Oli muwala wa nnyoko ddala, eyanyooma bba nʼabaana be, era oli mwannyina ddala owa baganda bo abanyooma ba bbaabwe nʼabaana baabwe. Nnyoko yali Mukiiti, kitaawo nga Mwamoli.

46Mukulu wo yali Samaliya eyabeeranga ne bawala be ku luuyi lwo olwʼObukiikakkono, ne muto wo ne bawala be nga babeera ku luuyi lwo olwʼObukiikaddyo, era nga ye Sodomu.

47Tewakoma ku kugoberera ngeri zaabwe kyokka, nʼokukoppa ebikolwa byabwe ebyʼekivve, naye waayitawo ebbanga ttono engeri zo zonna ne zisukka ku zaabwe obubi.

48Nga bwe ndi omulamu, bwʼayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu ne bawala be tebaatuuka ku ssa, ggwe ne bawala bo kwe mwatuuka.”

49“Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza: ye ne bawala be baali baamalala, nga baamululu abatafaayo, wadde okuyamba abaavu abaali mu bwetaavu.

50Baali baamalala, era baakola ebikolwa ebyʼekivve mu maaso gange, kyennava mbaggyawo nga bwe nasiima.

51So ne Samaliya teyatuuka awo; wakola ebikolwa ebyʼekivve okusinga ne bwe baakola, era nʼoleetera baganda bo okulabika ngʼabatuukirivu mu ebyo byonna byʼokola.

52Kaakano naawe kʼojjule ensonyi, kubanga owolereza baganda bo, ate nʼebibi bye wakola biswaza okusinga ebyabwe, kyebaliva balabika nga batuukirivu okukusinga. Kyonoova oswala, ne weetikka obuswavu bwo, kubanga oleetedde baganda bo okulabika ngʼabatuukirivu.”

53“Wabula ndizzaawo obugagga bwa Sodomu ne bawala be, nʼobwa Samaliya ne bawala be, ate ne nzizaawo nʼobubwo,

54olyoke weetikke obuswavu bwo, oswale mu maaso gaabwe olwʼebyo byonna bye wakola ngʼobawooyawooya.

55Baganda bo, Sodomu wamu ne bawala be, ne Samaliya wamu ne bawala be baliddayo nga bwe baali edda, ate naawe oliddayo nʼobeera nga bwe wali edda.

56Lwaki muganda wo Sodomu teyayogerwako ku lunaku olwʼamalala go,

57okwonoona kwo nga tekunnabikkulwa? Kaakano ofuuse kyakusekererwa eri abawala abʼe Busuuli ne baliraanwa be bonna, nʼeri abawala aba Bufirisuuti, abo bonna abakwetoolodde abakunyooma.

58Olibonerezebwa olwʼobukaba bwo nʼebikolwa byo ebyʼekivve, bwʼayogera Mukama Katonda.

59“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ndikukola nga bwe kikusaanira, kubanga wanyooma ekirayiro kyange, bwe wamenya endagaano.

60Naye ndijjukira endagaano gye nakola naawe mu biseera ebyʼobuvubuka bwo, era ndissaawo endagaano eyʼemirembe nʼemirembe.

61Olwo olijjukira engeri zo, nʼoswala bwʼolitwala baganda bo abakusinga obukulu ne bato bo, ne mbankuwa babeere bawala bo, naye si lwa ndagaano yange naawe.

62Ndinyweza endagaano yange naawe, era olimanya nga nze Mukama Katonda,

63nʼoluvannyuma olwʼokutangiririrwa, olijjukira ne wejjusa nʼotaddayo kwasamya nate kamwa ko, bwʼayogera Mukama Katonda.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>