Ezeekyeri 17:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, nʼaŋŋamba nti,

2“Omwana wʼomuntu, gerera ennyumba ya Isirayiri olugero;

3obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Waaliwo empungu ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, ngʼerina ebyoya bingi, nga byʼamabala agatali gamu, eyajja mu Lebanooni.

4Nʼeddira obusongenzo bwʼomuvule nʼemenyako amasanso gaagwo agasooka waggulu amato, nʼegwetikka nʼegutwala mu nsi eyʼabasuubuzi nʼegusimba mu kibuga kyʼabatunda ebyamaguzi.’

5“ ‘Nʼetwala emu ku nsigo ezʼensi eyo, nʼegisimba mu ttaka eggimu; nʼegisimba okumpi nʼamazzi amangi, nʼemera nʼeba ngʼomusafusafu,

6nʼebala nʼefuuka omuzabbibu, ne gulanda wansi; amatabi gaagwo ne gakula nga gadda ewaayo, naye emirandira gyagwo ne gisigala wansi waagwo. Ne gufuuka omuzabbibu ne guleeta amatabi nʼebikoola byagwo.’

7“ ‘Naye ne wabaawo empungu endala ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, nʼebyoya ebingi. Omuzabbibu ne gukuza emirandira gyagwo eri empungu eyo okuva mu kifo we gwasimbibwa, ate ne gwanjuluza nʼamatabi gaagwo gyʼeri egifukirire.

8Gwali gusimbiddwa mu ttaka eddungi awali amazzi amangi, guleete amatabi era gubale ebibala gubeere omuzabbibu ogwegombesa.’

9“Bategeeze nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Gulibeerera? Tegulisigulwa nʼamatabi gaakwo ne gatemebwa ne gukala? Tekiryetagisa omukono ogwʼamaanyi oba abantu abangi okugusigulayo.

10Ne bwe baligusimbuliza, gulirama? Tegulikalira ddala embuyaga ezʼEbuvanjuba bwe zirigufuuwa, ne gukalira mu kifo we gwakulira?’ ”

11Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

12“Gamba ennyumba enjeemu eyo nti, ‘Temumanyi bintu ebyo kye bitegeeza?’ Bategeeze nti, ‘Kabaka wʼe Babulooni yagenda e Yerusaalemi, nʼawamba kabaka waayo nʼabakungu be nʼabatwala e Babulooni.

13Nʼoluvannyuma nʼaddira omu ku balangira nʼakola naye endagaano, ngʼamulayiza. Yatwala nʼabasajja abalwanyi abazira abʼomu nsi,

14obwakabaka bukkakkane buleme kwegulumiza, era nga mu kukwata endagaano ye mwe balinywerera.

15Naye kabaka yamujeemera, nʼaweereza ababaka e Misiri okufunayo embalaasi nʼeggye eddene. Aliraba omukisa? Omuntu akola ebyo ayinza okuba omulamu? Alimenya endagaano nʼawona?’

16“ ‘Nga bwe ndi omulamu, bwʼayogera Mukama Katonda, alifiira mu Babulooni, mu nsi eya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye nʼamenya nʼendagaano gye baakola.

17Falaawo nʼeggye lye eddene, nʼekibiina kye ekinene, tebalibaako kye bamuyamba mu lutalo, bwe balizimba ebifunvu nʼebisenge okuzikiriza obulamu bwʼabangi.

18Olwʼokunyooma ekirayiro kye, nʼamenya endagaano, nʼakola ebintu ebyo byonna ate nga yeewaayo, kyaliva tawona.

19“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bwʼati nti, Nga bwe ndi omulamu, ndireeta ku mutwe gwe ekirayiro kye yanyooma, nʼendagaano yange gye yamenya.

20Ndimutegera akatimba kange, nʼagwa mu mutego gwange, era ndimuleeta e Babulooni ne musalira omusango olwʼobutali bwesigwa bwe gye ndi.

21Abaserikale be bonna abaliba badduka, balifa ekitala, nʼabaliwonawo balisaasaanyizibwa empewo; olwo olitegeera nga nze Mukama, nze nkyogedde.

22“ ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndiddira ettabi okuva ku busongezo bwʼomuvule ne ndisimba; era ndimenya amasanso okuva ku matabi gaagwo amato ne ndisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu.

23Ku ntikko eyʼolusozi lwa Isirayiri kwe ndirisimba era lirireeta amatabi ne libala ebibala, ne gaba omuvule ogwegombesa. Ennyonyi eza buli kika ziriwummulira ku gwo, era zirifuna we zituula mu bisiikirize ebyʼamatabi gaagwo.

24Era emiti gyonna egyʼomu ttale giritegeera nga nze Mukama ayimpaya omuti omuwanvu, ate ne mpanvuya omuti omumpi. Nkaza omuti ogwakamera, ne mmerusa nʼomuti ogubadde gukaze.

24“ ‘Nze Mukama Katonda nze nkyogedde, era ndikikola.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>