1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, nʼaŋŋamba nti,
2“Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti,
3“Nga bwe ndi omulamu, bwʼayogera Mukama Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isirayiri.
4Buli kiramu, kyange; obulamu bwʼomuzadde nʼobwʼomwana bwonna nabwo bwange.
5
6
7
8
9
10“Bwʼaba nʼomwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ngʼebyo,
11newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola:
12
13
14Naye bwʼaba nʼomuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe byʼakola, nʼatakola bya ngeri eyo;
15
16
17
18Naye kitaawe alifa olwʼebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, nʼanyaga muliraanwa we, nʼakola ebitaali birungi mu bantu banne.”
19“Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olwʼebibi bya kitaawe? Omwana bwʼaba akoze ebyʼensonga era ebituufu, ngʼagoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu.
20Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olwʼebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olwʼebibi ebyʼomwana we. Obutuukirivu bwʼomuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, nʼobutali butuukirivu bwʼoyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.’
21“Naye omuntu atali mutuukirivu bwʼalikyuka nʼalekeraawo okukola ebibi byonna, nʼakuuma ebiragiro byange byonna nʼakola ebyʼensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa.
22Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olwʼebyʼobutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu.
23Mulowooza nga nsanyukira okufa kwʼatali mutuukirivu? Bwʼayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ngʼakyuse okuva mu ngeri ze nʼaba omulamu?”
24“Naye omuntu omutuukirivu bwʼalekeraawo okukola ebyʼobutuukirivu, nʼakola ebyʼekivve bye bimu nʼebyʼomuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo ebyʼobutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olwʼobutaba mwesigwa aliba nʼomusango, era nʼolwʼebibi bye yakola, alifa.”
25“Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange yʼetali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya?
26Omuntu omutuukirivu bwʼaleka okukola ebikolwa bye ebyʼobutuukirivu nʼakola ebibi, mwʼalifiira, kubanga ebibi byʼakoze bye birimuleetera okufa.
27Naye bwʼalikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bwʼakoze, nʼakola ebyʼensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe.
28Era bwʼalirowooza ku bibi byonna byʼakoze, nʼakyuka nʼalekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa.
29Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya?
30“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ngʼebikolwa byammwe bwe biri, bwʼayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira.
31Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya nʼomwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?
32Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bwʼayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”