8Awo amawanga gonna ne gagirumba,okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo,ne bayanjuluza ekitimba kyabwe,ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.
9Ne bakozesa amalobo okugisikayo,ne bagiteeka mu kayumba akʼebyuma,ne bagitwala eri kabaka wʼe Babulooni;nʼeteekebwa mu kkomera,nʼetaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.
9
10“ ‘Maama wo yali ngʼomuzabbibu mu nnimiroogwasimbibwa okumpi nʼamazzi;ne gubala ebibala ne bijjula amatabi,kubanga waaliwo amazzi mangi.
12Naye gwasigulibwa nʼekiruyine gusuulibwa wansi;embuyaga ezʼEbuvanjuba ne zigukaza,ebibala byagwo ne biggwaako,nʼamatabi gaakwo amagumu ne gakala,era ne gwokebwa omuliro.
13Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,awakalu awatali mazzi.
14Omuliro gwava ku limu ku matabi,ne gwokya amatabi gaagwo nʼebibala byagwo.Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwoeriyinza okukolwamu omuggo ogwʼobwakabaka.’
14Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ngʼokukungubaga.”