1Nʼaŋŋamba nti “Omwana wʼomuntu, yimirira njogere naawe.”
2Awo bwe yali ngʼakyayogera nange, Omwoyo nanzikako nʼannyimusa, ne mpulira ngʼayogera nange.
3Nʼayogera nti, “Omwana wʼomuntu, nkutuma eri Abayisirayiri, eri eggwanga ejeemu eryanjeemera, era bo ne bajjajjaabwe banjeemera okuva edda nʼokutuusa olunaku lwa leero.
4Abantu be nkutumamu bakakanyavu era bakozi ba bibi. Bategeeze nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti,’
5Oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga nnyumba njeemu, balimanya nga mu bo musituseemu nnabbi.
6Kaakano ggwe omwana wʼomuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newaakubadde emyeramannyo nʼamaggwa nga bikwetoolodde, era ngʼobeera wakati mu njaba ezʼobusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu.
7Oteekwa okubategeeza ebigambo byange, oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga bajeemu.
8Naye ggwe omwana wʼomuntu wuliriza kye nkugamba. Tojeema ngʼennyumba eyo bwe yanjeemera. Yasamya akamwa ko olye bye nkuwa.”
9Awo ne ntunula, ne ndaba omukono nga gugoloddwa gye ndi, mu gwo nga mulimu omuzingo gwʼekitabo.
10Nʼagwanjuluriza mu maaso gange, munda nga muwandiikibbwamu ne kungulu nga kuwandiikibbwako ebigambo ebyʼokukungubaga nʼokukuba ebiwoobe, nʼokukaaba.