Ezeekyeri 20:1-49 LGCB2014 - Bible AI

1Awo mu mwaka ogwʼomusanvu, mu mwezi ogwokutaano ku lunaku olwʼekkumi, abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja okwebuuza ku Mukama Katonda, ne batuula wansi mu maaso gange.

2Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, mbategeeze nti,

3“Omwana wʼomuntu, yogera eri abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti: Muzze kunneebuuzaako? Mazima nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bwʼayogera Mukama Katonda.’

4“Olibasalira omusango? Olibasalira omusango ggwe omwana wʼomuntu? Kale bategeeze ebikolwa ebyʼekivve bajjajjaabwe bye baakola,

5era bategeeze nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe, neroboza Isirayiri, nalayirira bazzukulu bʼennyumba ya Yakobo, ne mbeeyabiza mu Misiri nga njogera nti, “Nze Mukama Katonda wammwe.”

6Ku lunaku olwo nabalayirira nti ndibaggya mu nsi yʼe Misiri ne mbatwala mu nsi gye nabanoonyeza, ensi ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki, ensi esinga mu nsi zonna obulungi.

7Ne mbagamba nti, “Buli muntu aggyewo ebintu ebyʼomuzizo mu maaso ge, muleme okweyonoonyesa ne bakatonda abalala abʼe Misiri, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.” ’ ”

8“ ‘Naye ne banjeemera, ne bagaana okumpuliriza; tebaggyawo bintu ebyʼomuzizo mu maaso gaabwe, newaakubadde okuleka bakatonda abalala abʼe Misiri. Kyenava njogera nti ndibabonerereza mu Misiri.

9Naye olwʼobutavumisa linnya lyange mu maaso gʼamawanga mwe baabeeranga, ne mu maaso gaabo be neeyabiza eri Abayisirayiri nga mbaggya mu Misiri, nakola bwe nti olwʼerinnya lyange.

10Kyenava mbaggya mu Misiri ne mbatwala mu ddungu.

11Nabawa ebiragiro byange ne mbamanyisa nʼamateeka gange, omuntu yenna bwʼabigoberera abeere mulamu.

12Ne mbawa ne Ssabbiiti zange ngʼakabonero wakati wange nabo, bategeere nga nze Mukama abatukuza.’

13“ ‘Naye era abantu ba Isirayiri ne banjeemera mu ddungu, ne batagoberera biragiro byange, ne banyooma amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira ne mbazikiririza mu ddungu.

14Naye olwʼerinnya lyange nakola ekyo obutavumisibwa obuteeswaza mu maaso gʼamawanga mwe nabaggya.

15Era ne mbalayirira mu ddungu nga bwe siribaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki, ensi esinga endala zonna obulungi,

16kubanga baajeemera amateeka gange ne batagoberera biragiro byange, ne batatukuza Ssabbiiti zange, kubanga emitima gyabwe gyasinzanga bakatonda abalala.

17Naye wakati mu ebyo byonna ne mbasaasira ne sibazikiriza, newaakubadde okubasaanyaawo mu ddungu.

18Ne ŋŋamba abaana baabwe mu ddungu nti, Temugoberera biragiro bya bakitammwe, newaakubadde okukwata amateeka gaabwe, so temweyonoonyesanga ne bakatonda baabwe abalala.

19Nze Mukama Katonda wammwe, mugoberere ebiragiro byange era mwegendereze okukwata amateeka gange,

20nʼokutukuza Ssabbiiti zange, era ebyo binaabanga kabonero wakati wange nammwe, olwo mulimanya nga nze Mukama Katonda wammwe.’

21“ ‘Naye abaana banjeemera; tebaagoberera biragiro byange newaakubadde okukwata amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti Ndibasunguwalira mu ddungu.

22Naye neekuuma olwʼerinnya lyange obutaliswaza mu maaso gʼamawanga mwe nnali mbaggye.

23Era ne mbalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi,

24kubanga tebaagoberera mateeka gange era ne bajeemera nʼebiragiro byange, era ne batatukuza Ssabbiiti zange, naye amaaso gaabwe ne gayaayaanira bakatonda abalala aba bajjajjaabwe.

25Kyennava mbawaayo eri ebiragiro ebitali birungi nʼamateeka ebitayinza kubabeezesaawo mu bulamu;

26ne mbaswaza nga nkozesa ebirabo byabwe, bwe baleeta omuggulanda waabwe ngʼekiweebwayo, balyoke bajjule entiisa, era bamanye nga nze Mukama.’

27“Kale omwana wʼomuntu, yogera eri abantu ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti Mu kino nakyo bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola.

28Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo nʼebiweebwayo ebyokunywa.

29Kyenava mbabuuza nti, Ekifo ekyo ekigulumivu gye mugenda kya mugaso ki?’ ”

30“Noolwekyo gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Mulyeyonoona nga bajjajjammwe bwe baakola ne mugoberera ebintu ebyʼekivve?

31Bwe muwaayo ebirabo, ne muwaayo nʼabaana bammwe mu muliro ngʼebiweebwayo, mweyongera okweyonoona ne bakatonda bammwe abalala bonna. Nnyinza okubakkiriza okunneebuuzaako mmwe ennyumba ya Isirayiri? Nga bwe ndi omulamu temujja ku nneebuuzaako, bwʼayogera Mukama Katonda.

32“‘Mwogera nti, “Twagala okuba ngʼamawanga amalala, ngʼabantu abʼensi endala, abaweereza embaawo nʼamayinja,” naye ebyo bye mulowooza tebiribaawo nʼakatono.

33Nga bwe ndi omulamu, bwʼayogera Mukama Katonda, ndibafuga nʼomukono ogwʼamaanyi, era ndigolola omukono gwange nʼobusungu bungi.

34Ndibaggya mu mawanga nʼomukono ogwʼamaanyi omugolole, nga nzijudde obusungu, ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira.

35Ndibaleeta mu ddungu eryʼamawanga, era eyo gye ndibasalira omusango nga tutunuuliganye amaaso nʼamaaso.

36Nga bwe nasalira bajjajjammwe omusango mu ddungu eryʼensi ya Misiri, bwe ntyo bwe ndibasalira omusango, bwʼayogera Mukama Katonda.

37Ndibeetegereza nga muyita wansi wʼomuggo gwange ne mbassaako envumbo yʼendagaano yange.

38Ndibamaliramu ddala mu mmwe abajeemu era abansobya. Era newaakubadde nga ndibaggya mu nsi gye balimu, tebaliyingira mu nsi ya Isirayiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.

39“ ‘Ate ggwe ennyumba ya Isirayiri, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Mugende muweereze bakatonda bammwe abalala, mugende, naye oluvannyuma mulimpuliriza, ne mulekayo nʼokuvumisa erinnya lyange ettukuvu nʼebirabo byammwe era ne bakatonda bammwe abalala.

40Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi oluwanvu olwa Isirayiri mu nsi eyo, ennyumba ya Isirayiri yonna balimpeereza, nange ndibasembeza. Era eyo gye ndibasabira ebiweebwayo byammwe, nʼebibala ebibereberye ebyʼebirabo byammwe, wamu ne ssaddaaka zammwe ezitukuzibbwa.

41Bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira, ndibakkiriza nga bwenzikiriza akaloosa akʼevvumbe eddungi, era ndibalaga obutukuvu bwange mu maaso gʼamawanga.

42Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibaleeta mu nsi ya Isirayiri ensi gye nalayirira bajjajjammwe nʼomukono ogugoloddwa.

43Era eyo gye mulijjuukirira enneeyisa yammwe nʼebikolwa byammwe byonna bye mweyonoonyesa, era mulyetukuza olwʼebibi byonna bye mwakola.

44Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibakola ngʼerinnya lyange bwe liri so si ngʼebibi byammwe bwe biri, nʼebikolwa byammwe ebyʼobukumpanya bwe biri, mmwe ennyumba ya Isirayiri, bwʼayogera Mukama Katonda.’ ”

45Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti,

46“Omwana wʼomuntu, simba amaaso go mu bukiikaddyo, obabuulire era owe obunnabbi gye bali nʼeri ekibira ekyʼensi eyʼObukiikaddyo.

47Yogera eri ekibira ekyʼomu bukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama. Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukukumako omuliro, era gulizikiriza emiti gyonna, omubisi nʼomukalu. Ennimi ezʼomuliro tezirizikizibwa, na buli ludda okuva mu bukiikaddyo okutuuka mu bukiikakkono bulyokebwa.

48Buli muntu aliraba nga nze Mukama abyokezza, era tegulizikizibwa.’ ”

49Awo ne njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, banjogerako nti, ‘Oyo tanyumya ngero bugero.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>