1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, nʼaŋŋamba nti,
2“Omwana wʼomuntu tunuulira Yerusaalemi oyogere ku bifo ebitukuvu. Wa ekigambo kyʼobunnabbi eri ensi ya Isirayiri,
3oyogere nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, nnina oluyombo naawe, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo ne nzikiriza abatuukirivu nʼabatali batuukirivu abali mu ggwe.
4Kubanga ndiba nzikiriza abatuukirivu nʼabatali batuukirivu, kyendiva nnema okuzza ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne ntabaala buli muntu nakyo okuva Obukiikaddyo okutuuka Obukiikakkono.
5Awo abantu bonna balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, era tekiriddayo mu kiraato kyakyo nate.’ ”
6“Omwana wʼomuntu, kyonoova okaabira mu maaso gaabwe ngʼomutima gwo gujjudde ennaku nʼobuyinike.
7Bwe balikubuuza nti, ‘Okaabira ki?’ Oliddamu nti, ‘Olwʼamawulire ge nfunye, kubanga ebyo bwe birijja, buli mutima gulisaanuuka, na buli mukono ne gulemala, nʼemyoyo ne gizirika, nʼamaviivi gonna ne ganafuwa ne gafuuka ngʼamazzi.’ Bijja era birituukirira, bwʼayogera Mukama Katonda.”
8Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, nʼaŋŋamba nti,
9“Omwana wʼomuntu, wa obunnabbi oyogere nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti,
10
11
12
13“ ‘Okugezesebwa kuteekwa okujja. Kiba kitya ngʼomuggo gwʼobufuzi bwa Yuda ekitala gwe kinyooma, tegulabika nate? bwʼayogera Mukama Katonda.’
14
15
16
17
18Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, nʼaŋŋamba nti,
19“Omwana wʼomuntu, teekawo amakubo abiri ekitala kya kabaka wʼe Babulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu. Oteeke ekipande, awo ekkubo we lyawukanira okudda mu kibuga.
20Okole ekkubo erimu ekitala mwe kinaayita okulumba Labba ekyʼabaana ba Amoni, nʼeddala okulumba Yuda ne Yerusaalemi ekibuga ekiriko enkomera.
21Kabaka wʼe Babulooni aliyimirira mu kifo mu masaŋŋanzira, amakubo we gaawukanira, okutegeezebwa ebigambo bya Mukama; alisuula obusaale okukuba akalulu, ne yeebuuza ku bakatonda be, era alikebera nʼekibumba.
22Mu mukono gwe ogwa ddyo mwe mulibeera akalulu ka Yerusaalemi, gyʼaliteeka ebitomera wankaaki, era gyʼaliyimusiza eddoboozi eririragira okutta kutandike, era gyʼaliyimusiza eddoboozi eririrangirira olutalo, era gyʼaliteeka ebitomera emiryango, nʼokuzimba ebitindiro nʼebigo ebikozesebwa okutaayiza.
23Kulirabika ngʼobunnabbi obwʼobulimba eri abo aba mulayirira, naye alibajjukiza omusango gwabwe nʼabatwala nga bawambe.”
24“Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Olwʼokunzijjukiza omusango gwammwe, olwʼobujeemu bwammwe obwʼolwatu, ekiggyayo ebibi byammwe mu byonna bye mwakola, era olwʼokukola ebyo, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe.’ ”
25“Ggwe omulangira wa Isirayiri omwonoonefu, omukozi wʼebibi, olunaku gwe lutuukidde, ekiseera ekyʼokubonerezebwa kwo, bwe kituukidde ku ntikko esemberayo ddala,
26bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, oggyeko nʼengule, kubanga ebintu tebikyali nga bwe byali. Abakkakkamu baligulumizibwa, nʼabeegulumiza balikkakkanyizibwa.
27Matongo, matongo, ndikifuula matongo, era tekirizzibwa buggya okutuusa nnyinikyo lwʼalijja, era oyo gwe ndikiwa.”
28“Kaakano ggwe omwana wʼomuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni nʼobujoozi bwabwe:
29
30
31
32