1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, nʼaŋŋamba nti,
2“Omwana wʼomuntu, olikisalira omusango? Olisalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale mulumbe wakati mu bikolwa bye byonna ebyʼekivve;
3mugambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ggwe ekibuga ekittira abantu mu kyo era ekyeyonoonesa olwa bakatonda abalala be beekolera, weeleeseeko wekka ekivume,
4era osingiddwa olwʼomusaayi gwʼoyiye era weeyonoonyesezza olwa bakatonda abalala be weekolera. Ennaku zo ozikomekkerezza, enkomerero ye myaka gyo etuuse. Kyendiva nkuswaza eri amawanga, nʼofuuka ekyʼokusekererwa eri ensi zonna.
5Abali okumpi nʼabali ewala balikukudaalira, ggwe ekibuga ekinyoomebwa era ekijjudde emivuyo.
6“‘Laba, buli mulangira wa Isirayiri bwʼakozesa obuyinza bwe okuyiwa omusaayi.
7Bataata ne bamaama banyoomebwa, era nʼabagenyi mu mmwe banyigirizibwa, era babonyaabonya bamulekwa ne bannamwandu.
8Munyoomye ebintu byange ebitukuvu, ne mwonoona Ssabbiiti zange.
9Mu mmwe mulimu abantu abawaayiriza abaamalirira okuyiwa omusaayi, era mulimu nʼabo abaliira ku nsozi, ne bakola ebyʼobugwagwa.
10Era mu mmwe mulimu abajerega obwereere bwa bakitaabwe, era mulimu nʼabo abeebaka nʼabakazi abali mu nsonga zaabwe ezʼabakazi nga si balongoofu.
11Mu mmwe mulimu omusajja akola ebibi ebyʼobwenzi ne muka muliraanwa we, omulala nʼayonoonyesa mukamwana mu buswavu, ate omulala nʼakwata mwannyina muwala wa kitaawe.
12Mu mmwe mulimu abantu abalya enguzi okuyiwa omusaayi, ne basolooza amagoba agasukkiridde ne bafuna ekisukkiridde okuva ku baliraanwa baabwe mu ngeri eyʼobukumpanya, era munneerabidde, bwʼayogera Mukama Katonda.
13“‘Kale nno ndikuba mu ngalo olwʼamagoba agatasaanidde ge mukoze nʼomusaayi ogwayiyibwa wakati mu mmwe.
14Obuvumu bwo bulibeerera, oba emikono gyo giriba nʼamaanyi olunaku lwe ndikubonereza? Nze Mukama nkyogedde, era ndikikola.
15Ndibabunya mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi, era ndikomya obutali bulongoofu bwo.
16Bwʼoliggwaamu ekitiibwa mu maaso gʼamawanga, olimanya nga Nze Mukama,’”
17Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,
18“Omwana wʼomuntu, ennyumba ya Isirayiri efuuse amasengere gye ndi; bonna bali ngʼebikomo, masasi, nʼebyuma ebisigalira wansi mu kikoomi kyʼekyokero. Bali ngʼamasengere ga ffeeza.
19Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Kubanga mwenna mufuuse masengere, kyendiva mbakuŋŋaanya ne mbateeka wakati mu Yerusaalemi.
20Ngʼomuntu bwʼokuŋŋaanya effeeza, nʼebikomo, nʼebyuma, nʼamasasi mu kyokero okubisaanuusa nʼomuliro ogwʼamaanyi, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya nga ndiko obusungu nʼekiruyi, ne mbateeka mu kibuga ne mbasaanuusa.
21Ndibakuŋŋaanya, ne mbafukuta mu muliro ogwʼekiruyi kyange, ne musaanuukira munda mu kyo.
22Era ngʼeffeeza bwʼesaanuusibwa mu kyokero, nammwe bwe mutyo bwe mulisaanuusibwa munda mu kyo, era mulimanya nga Nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.’ ”
23Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, nʼaŋŋamba nti,
24“Omwana wʼomuntu, yogera eri ensi nti, ‘Ggwe oli nsi eteri nongoose, era etetonnyebwako nkuba ku lunaku olwʼekiruyi.
25Bannabbi bʼensi balina enkwe, bali ngʼempologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo gwayo; bavaabira abantu, ne batwala ebyʼobugagga nʼebintu ebyʼomuwendo, ne bafuula abakazi bangi mu kyo okuba bannamwandu.
26Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange era boonoonye ebintu byange ebitukuvu; tebaawuddeemu bitukuvu na bya bulijjo; bayigiriza nti tewali njawulo wakati wa bitali birongoofu nʼebirongoofu, so tebassaayo mwoyo okukuuma Ssabbiiti zange, ne banswaza Nze mu bo.
27Abakungu baakyo bali ngʼemisege egitaagulataagula omuyiggo gwagyo; bayiwa omusaayi ne batta abantu okukola amagoba mu butali bwenkanya.
28Bannabbi baakyo bakkiriza ebikolwa ebyo, nga babalimba nʼokwolesebwa okukyamu nʼokuwa obunnabbi obwʼobulimba, nga boogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda,” so nga Mukama tayogedde.
29Abantu abʼomu nsi bakola ebyʼobukumpanya ne babba; banyigiriza omwavu ne babonyaabonya ne munnaggwanga ne batabasalira musango mu bwenkanya.’ ”
30“Ne nnoonya omuntu mu bo ayinza okuzimba ekisenge era ayinza okubeeyimiririra mu maaso gange ku lwʼensi, naye ne siraba nʼomu.
31Kyendiva mbayiwako ekiruyi kyange, ne mbamalawo nʼomuliro ogwʼobusungu bwange, ne mbaleetako ebyo byonna bye baakola,” bwʼayogera Mukama Katonda.