1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,
2“Omwana wʼomuntu waaliwo abakazi babiri, nnyabwe omu,
3abeewaayo mu Misiri, ne bakola obwamalaaya okuviira ddala mu buto bwabwe, era eyo gye baakwatirakwatira ku mabeere ne batandika nʼokumanya abasajja.
4Erinnya lyʼomukulu nga ye Okola, ne muto we nga ye Okoliba. Baali bange, era banzalira abaana aboobulenzi nʼaboobuwala. Okola ye yali ayitibwa Samaliya, Okoliba nga ye Yerusaalemi.”
5“Okola nʼakola obwamalaaya ngʼakyali wange, nʼakabawala ku baganzi be Abasuuli,
6abaserikale abaayambalanga kaniki, nʼabaamasaza, nʼabaduumizi bʼeggye, bonna nga basajja balabika bulungi era nga beebagala embalaasi.
7Yeewaayo okubeera malaaya eri abakulembeze abʼe Bwasuli, ne yeeyonoonyesa ne bakatonda abalala bonna aba buli muntu gwe yakabawalanga naye.
8Teyalekayo bwamalaaya bwe yatandikira mu Misiri.”
9“Kyenava muwaayo eri baganzi be Abasuuli, be yakabawalanga nabo.
10Baamwambula, ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta nʼekitala. Yafuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa nʼekibonerezo.”
11“Newaakubadde nga muganda we Okoliba, yabiraba ebyo, yeeyongera mu bukaba bwe ne mu bwamalaaya bwe nʼokusinga muganda we.
12Yakabawala nʼAbasuuli, nʼabaamasaza nʼabaduumizi bʼeggye nʼabaserikale abaali bambadde obulungi engoye ennungi nʼabeebagalanga embalaasi nʼabaalabikanga obulungi abeegombebwanga.
13Ne ndaba nga naye yeeyonoonye, era bombi nga bakutte ekkubo lye limu.”
14“Naye wakati mu ebyo byonna, ne yeeyongeranga mu bwamalaaya bwe; nʼalaba ebifaananyi ebyʼabasajja ebyasiigibwa ku bisenge, nʼebifaananyi ebyʼAbakaludaaya ebyatonebwa mu langi emyufu,
15nga beesibye enkoba mu biwato, nga beesibye nʼebiremba ku mitwe, bonna nga bafaanana ngʼabakungu ba Babulooni abavuga amagaali abʼomu nsi eyʼAbakaludaaya.
16Awo olwatuuka, nʼabeegomba, nʼabatumira ababaka mu Bukaludaaya.
17Era Abababulooni ne bajja gyʼali, ne beebaka naye, era mu kwegomba kwe ne bamwonoona. Bwe baamusobyako nʼabaviira, nga yeetamiddwa.
18Bwe yagenda mu maaso nʼobwamalaaya bwe mu lwatu, nʼayolesa obwereere bwe, ne mmuviira nga nennyamidde, nga bwe nnava ku muganda we.
19Newaakubadde nga namukola ebyo byonna, yeeyongeranga bweyongezi mu maaso, nga bwe yejjukanya ennaku ezʼomu buvubuka bwe, bwe yakola obwamalaaya mu Misiri,
20gye yakabawalira ku baganzi be, abaalina entula ezʼekisajja nga zifaanana ezʼendogoyi, nʼamaanyi agabavaamu ngʼagʼembalaasi.
21Bwʼotyo nʼoyaayaanira okwegomba okwʼomu buvubuka bwo, bwe wali mu Misiri ne bakukwatirira mu ngeri eyʼobukaba, ne bakwatirira nʼamabeere go amato.”
22“Kale ggwe Okoliba, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ndikuma mu baganzi bo omuliro, ne bakulumba ku njuyi zonna:
23Abababulooni, nʼAbakaludaaya bonna, nʼabasajja abʼe Pekodi ne Sara ne Kowa, nʼAbaasuli bonna wamu nabo, nʼabavubuka abalabika obulungi, nʼabaamasaza nʼabaduumizi bʼeggye bonna, nʼabakungu abavuga amagaali nʼabaserikale abʼoku ntikko bonna, nga beebagadde embalaasi bonna.
24Balikulumba nga balina amagaali, nʼebiwalulibwa nʼekibiina ekyʼabantu; balyesega ne beetereeza mu bifo byabwe ne bakulumba enjuuyi zonna nga bakutte engabo ennene nʼentono nga bambadde nʼenkuufiira ezʼebyuma. Ndikuwaayo mu mukono gwabwe ne bakusalira omusango, era balikubonereza ngʼamateeka gaabwe bwe gali.
25Ndikuyiwako ekiruyi kyange, nabo ne bakubonereza mu busungu. Balibasalako ennyindo zammwe nʼamatu gammwe, nʼabalisigalawo balifa nʼekitala. Balitwala batabani bammwe ne bawala bammwe, nʼabaliba basigaddewo, balyokebwa omuliro.
26Balibambulamu engoye zammwe, ne batwala nʼebyʼomu bulago.
27Era ndikomya obukaba nʼobwamalaaya bwe waleeta okuva mu Misiri, so tolibuyaayaanira nate newaakubadde okujjukira Misiri.”
28“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukuwaayo eri abo abakukyawa nʼeri abo be weetamwa.
29Balikukwata nʼobukyayi obuyitiridde, ne batwala ebintu byonna bye wakolerera, ne bakuleka bwereere nga tolina kantu, nʼensonyi zʼobwamalaaya zirabibwe buli muntu. Obukaba bwo nʼobugwagwa bwo
30bwe bukuleetedde ebyo, kubanga weegomba amawanga ne weeyonoona ne bakatonda baabwe.
31Kubanga wagoberera ekkubo lya muganda wo, kyendiva nkuwa ekikompe kye mu mukono gwo.”
32“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti,
33
34
35“Mukama Katonda kyava ayogera nti, Kubanga mwanneerabira ne munkuba amabega, kyemuliva mubonaabona olwʼokwegomba kwammwe.”
36Mukama nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu olisalira Okola ne Okoliba omusango? Kale nno baŋŋange olwʼebikolwa byabwe ebyʼekivve,
37kubanga bakoze ebyʼobwenzi, nʼengalo zaabwe zijjudde omusaayi. Benze ne bakatonda baabwe, ne basaddaaka nʼabaana baabwe ngʼemmere yʼabakatonda baabwe, abaana be banzalira.
38Ne kino bakinkoze. Mu kiseera kyekimu boonoonye ekifo kyange ekitukuvu, era boonoonye ne Ssabbiiti zange.
39Ku lunaku kwe baassaddaakira abaana baabwe eri bakatonda baabwe, baayingira mu watukuvu ne bayonoonawo. Ebyo bye baakola mu nnyumba yange.”
40“Baatuma ababaka okuleeta abasajja okuva ewala ennyo, era bwe baatuuka, ne munaaba ku lwabwe ne mweyonja mu maaso, ne mwambala nʼamayinja agʼomuwendo omungi.
41Watuula ku kitanda ekinene ekyʼekitiibwa, nʼoyalirira nʼemmeeza mu maaso go ngʼetegekeddwako obubaane bwange nʼamafuta gange.”
42“Oluyoogaano olwʼekibinja kyʼabantu abatalina nnyo kye bakola ne Abaseba ne lumwetooloola; Abaseba ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu nʼabasajja abaalyanga mu kasasiro, ne bambaza ebintu ebyʼebikomo ku mikono gyʼomukazi ne muganda we, ne babatikkira nʼengule ennungi ku mitwe gyabwe.
43Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye olwʼobwenzi nti, ‘Bamukozeseze ddala nga malaaya kubanga ekyo kyali.’
44Ne beebaka naye. Ngʼabasajja bwe beebaka ne malaaya, bwe batyo beebaka nʼabakazi abo abagwenyufu, Okola ne Okoliba.
45Naye abatuukirivu balisalira omusango abakazi abenzi era abassi kubanga benzi era nʼengalo zaabwe zijjudde omusaayi.”
46“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, ‘Mukuŋŋaanye ekibiina ekinene mubaleeteko entiisa era mubanyage.
47Ekibiina ekyo kiribakuba amayinja ne babatemaatema nʼebitala; balitta batabani baabwe ne bawala baabwe ne bookya nʼennyumba zaabwe.’ ”
48Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bakitwale ngʼekyokulabula, baleme okukola ebyo bye mwakola.
49Mulisasulibwa olwʼobukaba bwammwe, era mulibonerezebwa olwʼebibi byammwe ebyʼokusinza bakatonda abalala, mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda.