1Awo olwatuuka mu mwaka ogwʼomwenda, mu mwezi ogwʼekkumi ku lunaku olwʼekkumi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,
2“Omwana wʼomuntu wandiika ennaku zʼomwezi eza leero, kubanga kabaka wʼe Babulooni azingizza Yerusaalemi olwaleero.
3Gerera ennyumba eyo enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti,
4
5
6Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti,
7
8
9Mukama Katonda kyava ayogera nti,
10
11
12
13“Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.”
14“Nze Mukama njogedde. Ekiseera kituuse okubaako ne kyenkola. Siritunula butunuzi so sirisaasira newaakubadde okwejjusa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku neeyisaayo ne ku bikolwa byo, bwʼayogera Mukama Katonda.”
15Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,
16“Omwana wʼomuntu, luliba lumu oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye gasinga okwegomba, naye tokungubaganga newaakubadde okukuba ebiwoobe newaakubadde okukaaba.
17Osindanga mu kasirise naye tokungubagiranga mufu. Ekiremba ku mutwe gwo okinywezanga, era osigalanga oyambadde engatto zo; tobikkanga wansi wʼamaaso go wadde okulya emmere eyʼomulumbe.”
18Awo ne njogera eri abantu ku makya, akawungeezi mukazi wange nʼafa. Enkeera ne nkola nga bwe nalagiddwa.
19Abantu ne bambuuza nti, “Bino bitegeeza ki?”
20Awo ne mbaddamu nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira nʼaŋŋamba nti,
21Tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, nnaatera okwonoona awatukuvu wange, ekigo kye mwegulumiririzangamu, amaaso gammwe kye geegombanga, nʼemitima gyammwe kye gyayagalanga, ne batabani bammwe ne bawala bammwe abaasigala emabega, balifa nʼekitala.
22Mulikola nga nze bwe nkoze, so temulibikka wansi wʼamaaso gammwe newaakubadde okulya emmere eyʼomulumbe.
23Mulisigala nga mwesibye ebiremba ku mitwe gyammwe, era mulisigala nga mwambadde engatto zammwe. Temulikuba biwoobe newaakubadde okukaaba naye muliyongobera olwʼebibi byammwe, buli muntu nʼasindira munne ennaku.
24Era Ezeekyeri aliba kabonero gye muli, era mulikola nga bwʼakoze. Ebyo bwe biribaawo, mulimanya nga nze Mukama Katonda.’ ”
25“Ate ggwe, omwana wʼomuntu, olunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, nʼessanyu lyabwe nʼekitiibwa kyabwe, nʼokwegomba okwʼamaaso gaabwe, nʼokwegomba okwʼemitima gyabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe,
26ku lunaku olwo aliba awonyeewo yʼalikuwa amawulire.
27Mu kiseera ekyo olyasamya akamwa ko, era olyogera eri kaawonawo so toliddayo kusirika. Era oliba kabonero gye bali, bamanye nga nze Mukama.”