Ezeekyeri 25:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

2“Omwana wʼomuntu, simba amaaso go eri abaana ba Amoni obawe obunnabbi.

3Bagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, kubanga mwakuba mu ngalo ne mwogera nti, “Otyo!” ku watukuvu wange bwe wayonooneka, nʼensi ya Isirayiri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse,

4kyendiva mbawaayo eri abantu abʼEbuvanjuba mube bantu baabwe abʼobwannanyini. Balikola olusiisira mu mmwe ne basiisira wakati mu mmwe, era balirya ebibala byammwe ne banywa nʼamata gammwe.

5Ndifuula Labba okubeera eddundiro lyʼeŋŋamira ne Amoni ne mufuula ekifo endiga we ziwummulira. Olwo mulimanya nga nze Mukama.

6Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti Kubanga wakuba mu ngalo, nʼosambagala nʼebigere, nʼosanyuka nʼettima lyonna eryʼomutima gwo nʼosekerera ensi ya Isirayiri,

7kyendiva nkugololerako omukono gwange era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga. Ndikusalirako ddala ku mawanga era nkumalirewo ddala okuva mu nsi. Ndikuzikiriza, era olimanya nga nze Mukama.’ ”

8“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Mowaabu ne Seyiri baayogera nti, “Laba ennyumba ya Yuda efuuse ngʼamawanga amalala gonna,”

9kyendiva nswaza oluuyi olumu olwa Mowaabu okutandika nʼebibuga ebiri ku nsalo yaakyo, Besuyesimosi, ne Baalumyoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa kyʼensi eyo.

10Ndiwaayo abantu abʼe Mowaabu wamu nʼabantu abʼe Amoni eri abantu abʼEbuvanjuba mube bantu baabwe abʼobwannanyini, abantu ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga,

11era ne Mowaabu ndimubonereza. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”

12“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bwʼetyo nʼesingibwa omusango olwʼekikolwa ekyo,

13Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne nzita abantu be nʼebisolo byabwe. Ndigisaanyaawo, nʼabo abaliba mu Temani okutuuka e Dedani balifa ekitala.

14Ndiwoolera eggwanga ku Edomu nga nkozesa omukono gwʼabantu bange Isirayiri, era balikola ku Edomu ngʼobusungu bwange nʼekiruyi kyange bwe byenkana; balimanya okuwoolera eggwanga kwange bwe kwenkana, bwʼayogera Mukama Katonda.’ ”

15“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Abafirisuuti beesasuza nga bawoolera eggwanga ne beesasuza nʼettima, ne banoonya okuzikiriza Yuda, nʼobukambwe obwʼedda,

16Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnaatera okugololera omukono gwange ku Bafirisuuti, era nditta Abakeresi, nʼabaliba basigaddewo ku mabbali gʼennyanja ndibazikiriza.

17Ndibawoolera eggwanga nʼebibonerezo ebyʼamaanyi ebyʼekiruyi. Balimanya nga nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>