1Awo olwatuuka mu mwaka ogwʼekkumi nʼogumu ku lunaku olwʼolubereberye mu mwezi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,
2“Omwana wʼomuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo nʼayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! Omulyango ogwʼamawanga gumenyeddwa, era nʼenzigi zinzigguliddwa kaakano nga bwʼafuuse amatongo, ndigaggawala,’
3Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nkuvunaana ggwe Ttuulo, ndiyimusa amawanga mangi gakulumbe, ngʼennyanja bwʼesitula amayengo gaayo.
4Balimenya bbugwe wa Ttuulo, ne basuula nʼemirongooti gye, era ndiggyawo ebifunfugu bye byonna ne mmufuula olwazi olwereere.
5Wakati mu nnyanja alibeera ekifo ekyʼokwanjulurizangamu obutimba obwʼebyennyanja, kubanga nze njogedde bwʼayogera Mukama Katonda. Alifuuka omunyago ogwʼamawanga,
6era ebifo bye ebyʼoku lukalu kwʼabeera birimalibwawo ekitala. Olwo balimanya nga nze Mukama.”
7“Era Mukama Katonda agamba nti, ‘Ndiweereza Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni kabaka wa bakabaka, eri Ttuulo okuva mu bukiikakkono, ngʼalina embalaasi nʼamagaali, nʼabeebagala embalaasi nʼeggye eddene.
8Alitta nʼekitala abatuuze bo ababeera ku lukalu, era alizimba ebigo okukwolekera, nʼateekawo nʼebitindiro okutuuka ku bbugwe wo nʼakwolekeza nʼengabo.
9Alitunuza ebintu bye ebitomera eri bbugwe wo, nʼamenyaamenya emirongooti gyo nʼebyokulwanyisa bye.
10Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, nʼenfuufu yaazo erikubikka era ne bbugwe wo alinyeenyezebwa olwʼamaloboozi gʼembalaasi ennwanyi, nʼolwʼebiwalulibwa nʼamagaali bwʼaliyingira mu wankaaki wo, ngʼabasajja bwe bayingira mu kibuga, nga bbugwe waakyo abotoddwamu ekituli.
11Embalaasi ze ziririnyirira enguudo zo; nʼabantu bo alibatta nʼekitala era nʼempagi zo ezʼamaanyi zirisuulibwa ku ttaka.
12Balinyaga obugagga bwo ne babba nʼebyamaguzi byo; balimenya bbugwe wo ne basaanyaawo nʼennyumba zo ennungi, nʼamayinja go nʼembaawo zo era nʼebifunfugu birisuulibwa wakati mu nnyanja.
13Ndikomya okuyimba kwo, era nʼamaloboozi agʼennanga zo tegaliwulirwa nate.
14Ndikufuula olwazi olwereere, era olibeera ekifo ekyʼokwanjulurizangamu obutimba obwʼebyennyanja. Tolizimbibwa nate, kubanga nze Mukama njogedde, bwʼayogera Mukama Katonda.’ ”
15“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda eri Ttuulo nti, Ebifo ebiri ku lubalama lwʼennyanja tebirikankana olwʼokubwatuka olwʼokugwa kwo, abaliba balumizibbwa bwe balisinda, nʼabalala ne battibwa wakati mu ggwe?
16Olwo abalangira bonna abʼoku lukalu lwʼennyanja baliva ku ntebe zaabwe ezʼobwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako nʼengoye zaabwe ezʼemiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde.
17Balikukungubagira ne bakugamba nti,
18
19“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikufuula ekibuga ekirimu ebifulukwa, ngʼebibuga ebitakyabaamu bantu era bwe ndikuyimusizaako obuziba bwʼennyanja, nʼamazzi gaayo ne gakubikka,
20kale ndikussa wansi ngʼabo abagenda mu bunnya eri abaafa edda. Olibeera wansi mu ttaka, mu bifo ebyazika edda ennyo, nʼabo abaserengeta mu bunnya, so tojja kudda wadde okufuna ekifo mu nsi ya balamu.
21Ndikutuusa ku nkomerero embi, so toliwulirwa nate. Balikunoonya, naye toliddayo kulabika,” bwʼayogera Mukama Katonda.