6Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani,nʼemmanga zo, bazikola mu nzo,ezʼoku bizinga ebya Kittimu,nga bazaaliiridde nʼamasanga.
7Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri,era lyakozesebwanga ebendera;nʼengoye zo zaali za bbululu nʼezʼeffulunguezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali gʼennyanja.
8Abasajja bʼe Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi,nʼabasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.
19“Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro nʼembawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.”
20“Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.”
21“Buwalabu nʼabalangira bonna abʼe Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana bʼendiga, nʼendiga ennume nʼembuzi.”
22“Abasuubuzi abʼe Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, nʼamayinja gonna agʼomuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.”
23“Kalani, ne Kaane ne Adeni nʼabasuubuzi abʼe Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe.
26Abakubi bʼenkasi bakutwalaawali amayengo amangi.Naye omuyaga ogwʼEbuvanjuba gulikumenyeramenyerawakati mu nnyanja.
27Obugagga bwo nʼebyamaguzi byo nʼebikozesebwa byo,nʼabalunnyanja bo,nʼabagoba bo,nʼabasuubuzi bo nʼabaserikale bo bonnana buli muntu ali ku kyombo balibbirawakati mu nnyanja ku lunaku kwʼoligwiira ku kabenje.
28Eddoboozi lyʼokukaaba kwʼabalunnyanja bo,kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lwʼennyanja.
29Abakubi bʼenkasi bonnabalyabulira ebyombo byabwe;nʼabagoba nʼabalunnyanja bonnabaliyimirira ku lubalama lwʼennyanja.
30Baliyimusa amaloboozi gaabwene bakukaabira nnyo;era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwene beevulunga mu vvu.