1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, nʼaŋŋamba nti,
2“Omwana wʼomuntu, gamba omufuzi wʼe Ttuulo nti,
2Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti,Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti,‘Ndi katonda,era ntuula ku ntebe eyʼobwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’songa oli muntu buntu, so si katonda,newaakubadde ngʼolowooza nga oli mugezi nga katonda.
12‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ngʼojjudde amageziera nga watuukirira mu bulungi.
13Wali mu Adeni,ennimiro ya Katonda;buli jjinja eryʼomuwendo nga likubikako,sadio, topazi, alimasi, berulo,sokamu, yasepi, safiro,ejjinja erya nnawandagala.Okuteekebwateekebwa kwo nʼebikunyweza byakolebwa mu zaabu.Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
14Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta,nakwawula lwa nsonga eyo.Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda,nʼotambulira wakati mu mayinja agʼomuliro.
15Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonnaokuva ku lunaku lwe watondebwa,okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
16Mu bikolwa byo ebingi,wajjula empisa embi,era nʼokola ebibi.Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda,mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumangaokuva mu mayinja agʼomuliro.
17Omutima gwo gwalina amalalaolwʼobulungi bwo,ne weelimbalimbaolwʼekitiibwa kyo.Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuulaekyʼokusekererwa mu maaso ga bakabaka.
18Olwʼebibi byo ebingi nʼolwʼobukumpanya bwooyonoonye ebifo byo ebitukuvu.Kyenava nziggya omuliro mu ggwene gukusaanyaawo,ne nkufuula evvu ku nsiwakati mu abo bonna abaakulabanga.
22“ ‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni,era ndyegulumiza mu ggwe.Balimanya nga nze Mukamabwe ndimubonereza,ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.
23Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusaomusaayi mu nguudo ze.Abafu baligwa wakati mu ye,ekitala kimulumbe enjuuyi zonna.Olwo balimanya nga nze Mukama.
24“ ‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.
25“ ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso gʼamawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo.
26Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba nʼennimiro ezʼemizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’ ”