Ezeekyeri 29:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Awo mu mwaka ogwʼekkumi, mu mwezi ogwʼekkumi ku lunaku olwʼekkumi nʼebbiri, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

2“Omwana wʼomuntu, tunula eri Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri olangirire obunnabbi gyʼali nʼeri Misiri yonna.

3Yogera gyʼali nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti,

3“Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka wʼe Misiri, ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo, ogwogera nti, Kiyira wange, era nze nnamwekolera.”

4Nditeeka amalobo mu mba zo, era ndireetera nʼebyennyanja ebyʼomu migga gyo okukwatira ku magamba go. Ndikusikayo mu migga gyo ngʼebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go.

5Ndikutwala mu ddungu, ggwe nʼebyennyanja byonna ebyʼomu migga gyo. Oligwa ku ttale, so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa. Ndikuwaayo okuba emmere eri ensolo enkambwe ezʼoku nsi nʼeri ebinyonyi ebyʼomu bbanga.’

6Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze Mukama Katonda.” “Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri.

7Bwe bakunyweza nʼemikono gyabwe, nʼomenyekamenyeka, nʼoyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, nʼomenyeka, era nʼokutula nʼemigongo gyabwe.

8Mukama Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira nʼekitala, nʼenzita abantu bo nʼebisolo byabwe.

9Ensi eyʼe Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.”

9Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,”

10kyennaava mbeera nʼensonga eri ggwe nʼeri emigga gyo, era ndifuula ensi eyʼe Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogwʼe Sevene okutuuka ku nsalo eyʼe Buwesiyopya.

11Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde kyʼensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana.

12Ndifuula ensi eyʼe Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era ne bibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.

13“Naye Mukama Katonda agamba nti; Oluvannyuma lwʼemyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira,

14era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi eyʼe Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa.

15Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga.

16Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo ekyʼekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda.”

17Awo mu mwaka ogwʼamakumi abiri mu omusanvu, mu mwezi ogwʼolubereberye ku lunaku olusooka mu mwezi, ekigambo kya Mukama ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

18“Omwana wʼomuntu, Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye nʼeggye lye ne bataweebwa mpeera olwʼokulumba Ttuulo.

19Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, nʼabanyagira ddala era yʼeriba empeera eyʼeggye lye.

20Mmuwadde ensi eyʼe Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye nʼeggye lye bankolera omulimu, bwʼayogera Mukama Katonda.

21“Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe[3] eryʼamaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwako mu bo. Olwo balimanya nga nze Mukama.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>