1Awo nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, lya ekiri mu maaso go, lya omuzingo gwʼempapula guno; oluvannyuma ogende oyogere eri ennyumba ya Isirayiri.”
2Ne njasama, nʼampa omuzingo gwʼempapula ne ngulya.
3Nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, lya omuzingo gwʼempapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo.” Ne ngulya, ne guwoomerera ngʼomubisi gwʼenjuki.
4Oluvannyuma nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, kaakano laga eri ennyumba ya Isirayiri oyogere ebigambo byange gye bali.
5Sikutuma eri eggwanga eririna enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, bʼotayinza kutegeera mu njogera, naye eri ennyumba ya Isirayiri,
6so si eri abantu abangi abalina enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, bʼotayinza kutegeera bye bagamba. Mazima singa nakutuma gye bali, bandikuwulirizza.
7Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo nʼemitima mikakanyavu.
8Naye naawe ndikufuula omukalubo era omukakanyavu mu mutima nga bo.
9Ndifuula ekyenyi kyo okuba ngʼejjinja erikaluba ennyo, erikaluba ngʼejjinja eryʼembaalebaale. Tobatya so totiisibwatiisibwa, newaakubadde nga nnyumba njeemu.”
10Nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, wuliriza bulungi era okwate ebigambo byonna bye njogera naawe.
11Genda kaakano eri abantu bo, mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo. Bagambe nti, Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda, obanga banaawulira, obanga tebaawulire.”
12Awo Omwoyo nʼansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ngʼokuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe mu kifo gyʼabeera.”
13Okuwuuma okwʼebiwaawaatiro byʼebiramu nga bikuubagana, nʼokuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo kwali ngʼokuwuluguma okwʼamaanyi.
14Omwoyo nʼansitula nʼantwala, ne ŋŋendera mu buyinike ne mu busungu, ngʼomukono gwa Mukama ogwʼamaanyi guli ku nze.
15Ne ntuuka mu kifo ekimu awaali abawaŋŋanguse e Terabibu ku mugga Kebali, ne ntuula mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde.
16Oluvannyuma lwʼennaku omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinzijira:
17“Omwana wʼomuntu, nkufudde omukuumi wʼennyumba ya Isirayiri, era buli lwʼonoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga.
18Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ nʼotamulabula newaakubadde okwogera naye ngʼomulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olwʼobutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe.
19Naye bwʼolirabula omuntu atali mutuukirivu, nʼatalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olwʼekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.”
20“Ate era bwʼalireka ebikolwa bye ebyʼobutuukirivu nʼakola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olwʼokubanga tewamulabula, alifa olwʼekibi kye. Ebikolwa ebyʼobutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olwʼomusaayi gwe.
21Kyokka bwʼolabulanga omutuukirivu obutayonoona, nʼatayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.”
22Omukono gwa Mukama gwʼandiko eyo, nʼaŋŋamba nti, “Golokoka olage ku ttale, era eyo gye nnaayogerera naawe.”
23Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya Mukama kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi.
24Awo Omwoyo nʼanzikako, nʼannyimusa okuva we nnali, nʼaŋŋamba nti, “Genda weggalire mu nnyumba yo.
25Ggwe omwana wʼomuntu balikusiba emiguwa, nʼolemwa okugenda okulaba abantu bo.
26Ndiziba akamwa ko, nʼosirikira ddala, nʼolema okubanenya, newaakubadde nga nnyumba njeemu.
27Kyokka bwe ndyogera gyʼoli, ndizibula akamwa ko era olibagamba nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Ayinzabyonna.’ Aliwuliriza kale aliwuliriza, nʼoyo aligaana okuwuliriza naye muleke agaane okuwuliriza; nnyumba njeemu.”